Loading Bible Translation
First-time download in progress. This may take a few seconds…
Luganda Holy Bible Wordproject Bible
56 verses
1Bino bye biramago eby'abaana ba Isiraeri, bwe baava mu nsi y'e Misiri ng'eggye lyabwe bwe lyali wansi w'omukono gwa Musa ne Alooni.
2Musa n'awandiika okusitula kwabwe ng'ebiramago byabwe bwe byali olw'ekiragiro kya Mukama: era bino bye biramago byabwe ng'okusitula kwabwe bwe kwali.
3Ne basitula e Lamesesi mu mwezi ogw'olubereberye, ku lunaku olw'ekkumi n'ettaano olw'omwezi ogw'olubereberye; ku lw'enkya Okuyitako nga kuwedde abaana ba Isiraeri ne bavaayo n'omukono ogwagulumizibwa mu maaso g'Abamisiri bonna,
4Abamisiri bwe baali nga bakyaziika ababereberye baabwe bonna Mukama be yakuba mu bo: ne ku bakatonda baabwe Mukama n'awalana emisango.
5Abaana ba Isiraeri ne basitula e Lamesesi, ne basiisira e Sukkosi.
6Ne basitula e Sukkosi, ne basiisira e Yesamu, ekiri ku mabbali g'eddungu.
7Ne basitula e Yesamu ne badda ennyuma okutuuka e Pikakirosi, ekyolekera Baalizefoni: ne basiisira okwolekera Migudooli.
8Ne basitula e Kakirosi, ne bayita wakati mu nnyanja ne bayingira mu ddungu: ne batambula olugendo olw'ennaku ssatu mu ddungu ery'e Yesamu, ne basiisira mu Mala.
9Ne basitula e Mala ne batuuka e Erimu: era mu Erimu waaliwo ensulo z'amazzi kkumi na bbiri, n'enkindu nsanvu; ne basiisira eyo.
10Ne basitula e Erimu, ne basiisira ku Nnyanja Emmyufu.
11Ne basitula okuva ku Nnyanja Emmyufu, ne basiisira mu ddungu Sini.
12Ne basitula okuva mu ddungu Sini, ne basiisira e Dofuka.
13Ne basitula e Dofuka, ne basiisira e Yalusi.
14Ne basitula e Yalusi, ne basiisira e Lefidimu, awataali mazzi abantu okunywa.
15Ne basitula e Lefidimu, ne basiisira mu ddungu lya Sinaayi.
16Ne basitula okuva mu ddungu lya Sinaayi, ne basiisira e Kiberosukataava.
17Ne basitula e Kiberosukataava, ne basiisira e Kazerosi.
18Ne basitula e Kazerosi, ne basiisira e Lisuma.
19Ne basitula e Lisuma, ne basiisira e Limoniperezi.
20Ne basitula e Limoniperezi, ne basiisira e Libuna.
21Ne basitula e Libuna, ne basiisira e Lisa.
22Ne basitula e Lisa, ne basiisira e Kekerasa.
23Ne basitula e Kekerasa, ne basiisira ku lusozi Seferi.
24Ne basitula okuva ku lusozi Seferi, ne basiisira e Kalada.
25Ne basitula e Kalada, ne basiisira e Makerosi.
26Ne basitula e Makerosi, ne basiisira e Takasi.
27Ne basitula e Takasi, ne basiisira e Tera.
28Ne basitula e Tera, ne basiisira e Misuka.
29Ne basitula e Misuka, ne basiisira e Kasumona.
30Ne basitula e Kasumona, ne basiisira e Moserosi.
31Ne basitula e Moserosi, ne basiisira e Beneyakani.
32Ne basitula e Beneyakani, ne basiisira e Kolukagidugada.
33Ne basitula e Kolukagidugada, ne basiirisa e Yorubasa.
34Ne basitula e Yorubasa, ne basiisira e Yabulona.
35Ne basitula e Yabulona, ne basiisira e Ezyonigeba.
36Ne basitula e Ezyonigeba, ne basiisira mu ddungu Zini (ye Kadesi):
37Ne basitula e Kadesi, ne basiisira ku lusozi Koola, ku mabbali g'ensi ya Edomu.
38Alooni kabona n'alinnya ku lusozi Koola olw'ekiragiro kya Mukama, n'afiira okwo, abaana ba Isiraeri nga baakamaze emyaka ana okuva mu nsi y'e Misiri, mu mwezi ogw'okutaano, ku lunaku olw'olubereberye olw'omwezi.
39Era Alooni yali yaakamaze emyaka kikumi mu abiri mu esatu bwe yafiira ku lusozi Koola.
40N'Omukanani, kabaka w'e Yaladi, eyatuulanga ebukiika obwa ddyo mu nsi ya Kanani, n'awulira abaana ba Isiraeri nga bajja.
41Ne basitula okuva ku lusozi Koola, ne basiisira e Zalumona.
42Ne basitula e Zalumona, ne basiisira e Punoni.
43Ne basitula e Punoni, ne basiisira e Yobosi.
44Ne basitula e Yobosi, ne basiisira e Iyeabalimu, ku mabbali ga Mowaabu.
45Ne basitula e Iyeabalimu, ne basiisira e Dibonugadi.
46Ne basitula e Dibonugadi, ne basiisira e Yalumonudibulasaimu.
47Ne basitula e Yalumonudibulasaimu, ne basiisira ku nsozi Abalimu, okwolekera Nebo.
48Ne basitula okuva ku nsozi Abalimu, ne basiisira mu nsenyi za Mowaabu ku Yoludaani e Yeriko.
49Ne basiisira ku Yoludaani, okuva e Besuyesimosi okutuuka e Yaberisitimu mu nsenyi za Mowaabu.
50Mukama n'agambira Musa mu nsenyi za Mowaabu ku Yoludaani e Yeriko nti
51Yogera n'abaana ba Isiraeri obagambe nti Bwe mulisomoka Yoludaani ne muyingira mu nsi ya Kanani,
52kale muligobamu bonna abatuula mu nsi mu maaso gammwe, ne muzikiriza amayinja gaabwe gonna agaliko ebifaananyi, ne muzikiriza ebifaananyi byabwe byonna ebifumbe, ne musuulasuula ebifo byabwe byonna ebigulumivu:
53era mulirya ensi ne mutuula omwo: kubanga mmwe ngiwadde ensi okugirya.
54Era mulisikira ensi n'obululu ng'enda zammwe bwe ziri; abayinga obungi mulibawa obusika okusukkiriza, n'abatono olibawa obusika okukendeezaako: wonna wonna akalulu we kaligwirira omuntu, kale we waliba awawe; ng'ebika bya bakitammwe bwe biri bwe mulisika bwe mutyo.
55Naye bwe mutalikkiriza kugobamu abo abatuula mu nsi mu maaso gammwe; kale abo be mulisigaza ku bo banaabanga ng'ebifumita mu maaso gammwe era ng'amaggwa mu mbiriizi zammwe, era banaabateganyanga mu nsi gye mulituulamu.
56Awo olulituuka, nga bwe nnali ndowooza okubakola bo, bwe ntyo bwe ndibakola mmwe.