Loading Bible Translation
First-time download in progress. This may take a few seconds…
Luganda Holy Bible Wordproject Bible
29 verses
1Mukama n'agamba Musa nti
2Lagira abaana ba Isiraeri obagambe nti Bwe muliyingira mu nsi ya Kanani, (eyo ye nsi eribagwira okuba obusika, ensi ya Kanani ng'ensalo zaayo bwe ziri,)
3kale oluuyi lwammwe olw'obukiika obwa ddyo luliva ku ddungu Zini ne luyita ku mabbali ga Edomu, n'ensalo yammwe ey'obukiika obwa ddyo eriva ku nkomerero y'Ennyanja Ey'omunnyo ebuvanjuba:
4n'ensalo yammwe erikyukira ku luuyi olw'obukiika obwa ddyo olw'ekkubo eririnnya ku Akulabbimu, n'eyita n'etuuka Ezini: n'enkomerero yaayo eriba ku luuyi olw'obukiika olwa ddyo olw'e Kadesubanea; era erifuluma okutuuka e Kazaladali, n'eyita n'etuuka e Yazimoni:
5era ensalo erikyukira okuva e Yazimoni okutuuka ku mugga ogw'e Misiri, n'enkomerero yaayo eriba ku nnyanja.
6N'okuba ensalo ey'ebugwanjuba, muliba n'ennyanja ennene n'ensalo yaayo: eyo y'eriba ensalo yammwe ey'ebugwanjuba.
7N'eno y'eriba ensalo yammwe ey'obukiika obwa kkono: okuva ku nnyanja ennene mulyerambira olusozi Koola:
8okuva ku lusozi Koola muliramba okutuuka w'oyingirira e Kamasi; n'enkomerero y'ensalo eriba ku Zedada:
9era ensalo erifuluma okutuuka e Zifuloni, n'enkomerero yaayo eriba ku Kazalenaani: eyo y'eriba ensalo yammwe ey'obukiika obwa kkono.
10Era muliramba ensalo yammwe ey'ebuvanjuba okuva e Kazalenaani okutuuka e Sefamu:
11era ensalo eriva e Sefamu n'ekka e Libula ku luuyi olw'ebuvanjuba olw'e Yaini; era ensalo erikka, n'etuuka ku lubalama lw'ennyanja ey'e Kianeresi ebuvanjuba:
12era ensalo erikka n'etuuka ku Yoludaani, n'enkomerero yaayo eriba ku Nnyanja Ey'omunnyo: eyo y'eriba ensi yammwe ng'ensalo zaayo bwe ziriba enjuyi zonna.
13Musa n'alagira abaana ba Isiraeri ng'ayogera nti Eyo ye nsi gye mulisikira n'obululu, Mukama gy'alagidde okuwa ebika omwenda n'ekika eky'ekitundu:
14kubanga ekika ky'abaana ba Lewubeeni ng'ennyumba za bakitaabwe bwe ziri, n'ekika ky'abaana ba Gaadi ng'ennyumba za bakitaabwe bwe ziri, baamala okuweebwa obusika bwabwe n'ekika eky'ekitundu ekya Manase baamala okubuweebwa:
15ebika ebibiri n'ekika eky'ekitundu baamala okuweebwa obusika bwabwe emitala wa Yoludaani e Yeriko ebuvanjuba enjuba gy'eva.
16Mukama n'agamba Musa nti
17Gano ge mannya g'abasajja abalibagabira ensi okuba obusika: Eriyazaali kabona ne Yoswa mutabani wa Nuni.
18Era mulitwala omukulu omu ku buli kika, okugaba ensi okuba obusika.
19Era gano ge mannya g'abasajja: ku kika kya Yuda Kalebu mutabani wa Yefune.
20Ne ku kika ky'abaana ba Simyoni Semweri mutabani wa Ammikudi.
21Ku kika kya Benyamini, Eridaadi mutabani wa Kisuloni.
22Ne ku kika ky'abaana ba Ddaani, omukulu omu Buki mutabani wa Yoguli.
23Ku baana ba Yusufu: ku kika ky'abaana ba Manase, omukulu omu Kanieri mutabani wa Efodi;
24ne ku kika ky'abaana ba Efulayimu omukulu omu Kamueri mutabani wa Sifutani.
25Ne ku kika ky'abaana ba Zebbulooni, omukulu omu Erizafani mutabani wa Palunaki.
26Ne ku kika ky'abaana ba Isakaali, omukulu omu Palutieri mutabani wa Azani.
27Ne ku kika ky'abaana ba Aseri, omukulu omu Akikuda mutabani wa Seromi.
28Ne ku kika ky'abaana ba Nafutaali, omukulu omu Pedakeri mutabani wa Ammikudi.
29Abo be baabo Mukama be yalagira okugabira abaana ba Isiraeri obusika mu nsi ya Kanaani.