Loading Bible Translation
First-time download in progress. This may take a few seconds…
Luganda Holy Bible Wordproject Bible
31 verses
1Eminzaani ey'obulimba ya muzizo eri Mukama: Naye ekipima ekituufu ky'asanyukira.
2Amalala lwe gajja, lwe wajja n'ensonyi: Naye amagezi gaba n'abeetoowaza.
3Obutayonoona obw'abagolokofu bulibaluŋŋamya: Naye obubambaavu bw'abo abasala enkwe bulibazikiriza.
4Obugagga tebuliiko kye bugasa ku lunaku olw'obusungu: Naye obutuukirivu buwonya mu kufa.
5Obutuukirivu bw'oyo eyatuukirira bunaaluŋŋamyanga ekkubo lye: Naye omubi aligwa olw'obubi bwe ye.
6Obutuukirivu obw'abagolokofu bulibawonya: Abo abasala enkwe balikwasibwa n'ettima lyabwe bo.
7Omuntu omubi bw'afanga, okusuubira kwe kuzikiriranga: N'essuubi ery'obutali butuukikirivu libula.
8Omutuukirivu awonyezebwa mu nnaku, Omubi n'adda mu kifo kye.
9Atamanyi Katonda azikiriza munne n'akamwa ke: Naye abatuukirivu baliwonyezebwa olw'okumanya.
10Abatuukirivu bwe balaba ebirungi, ekibuga kisanyuka: Era ababi bwe babula, wabaawo okuleekaana.
11Omukisa ogw'abagolokofu gwe gugulumiza ekibuga: Naye akamwa k'ababi ke kakisuula.
12Anyooma munne abulwa amagezi: Naye omuntu alina okutegeera asirika.
13Atambulatambula ng'alyolyoma abikkula ebyama: Naye oyo alina omwoyo omwesigwa akisa ekigambo.
14Okuluŋŋamya okw'amagezi nga kubuze, abantu bagwa: Naye mu bateesa ebigambo abangi mwe muli emirembe.
15Eyeeyimirira oyo gw'atamanyi alibalagalwa: Naye akyawa obuyima anaabanga wa nkalakkalira.
16Omukazi ow'ekisa aguguba n'ekitiibwa: N'abasajja ab'amawaggali baguguba n'obugagga.
17Asaasira akola bulungi emmeeme ye ye: Naye omukambwe ateganya omubiri gwe ye.
18Omubi afuna empeera emulimbalimba: Naye oyo asiga obutuukirivu aba n'empeera ey'enkalakkalira.
19Anywerera mu butuukirivu ye alituuka mu bulamu: N'oyo agoberera obubi yetta yekka.
20Abo abalina omutima omukyamu ba muzizo eri Mukama: Naye abo abalina ekkubo eryatuukirira b'asanyukira.
21Omukono newakubadde nga gwegatta n'omukono, omuntu omubi taliwona kubonerezebwa: Naye ezzadde ery'abatuukirivu liriwonyezebwa.
22Ng'ekyobuyonjo ekya zaabu ekiri mu nnyindo y'embizzi, Bw'atyo bw'abeera omukazi omulungi atalina kuteesa.
23Abatuukirivu kye beegomba birungi bisa: Naye ababi kye basuubira busungu.
24Wabaawo asaasaanya ne yeeyongera nate okwala; Era wabaawo akodowala okusinga bwe kigwana, naye kireeta kwetaaga bwetaazi.
25Emmeeme egabagaba eneegejjanga: N'oyo afukirira amazzi, naye alifukirirwa yennyini.
26Amma eŋŋaano, abantu balimukolimira: Naye omukisa gunaabanga ku mutwe gw'oyo agitunda.
27Anyiikira okunoonyanga ebirungi, anoonyanga n'okuganja: Naye akenneenya ettima, linaamujjiranga.
28Eyeesiga obugagga bwe aligwa: Naye abatuukirivu banaayeranga ng'amalagala amabisi.
29Ateganya ennyumba ye ye alisikira empewo: N'omusirisuru aliba muddu w'oyo alina omutima ogw'amagezi.
30Ebibala by'omutuukirivu muti gwa bulamu: N'oyo alina amagezi afuna emmeeme z'abantu.
31Laba, omutuukirivu aliweebwa empeera mu nsi: Omubi n'omwonoonyi tebalisinga nnyo?