Loading Bible Translation
First-time download in progress. This may take a few seconds…
Luganda Holy Bible Wordproject Bible
28 verses
1Ayagala okubuulirirwa ayagala okumanya: Naye oyo akyawa okunenyezebwa aliŋŋanga ensolo.
2Omuntu omulungi anaaweebwanga Mukama ekisa: Naye omuntu ow'enkwe embi alimusalira omusango okumusinga.
3Omuntu taanywezebwenga lwa bubi: Naye emmizi gy'abatuukirivu tegijjululwenga ennaku zonna.
4Omukazi eyeegendereza ngule eri bba: Naye aswaza kivundu mu magumba ge.
5Ebirowoozo eby'abatuukirivu bya nsonga: Naye ababi bye bateesa bulimba.
6Ebigambo eby'ababi bya kutega musaayi: Naye akamwa k'abagolokofu kalibawonya.
7Ababi bameggebwa ne babula: Naye ennyumba ey'abatuukirivu eriyimirira.
8Omuntu alisiimibwa ng'amagezi ge bwe gali: Naye oyo alina omutima omukyamu alinyoomebwa.
9Oyo atayitibwa ka buntu, era alina omuddu, Asinga oyo eyessaamu ekitiibwa era abulwa eby'okulya.
10Omuntu omutuukirivu alowooza obulamu bw'ensolo ye: Naye okusaasira kw'ababi kukambwe.
11Alima ensi ye aliba n'emmere nnyingi: Naye agoberera abataliiko kye bagasa abuliddwa okutegeera.
12Omubi yeegomba ekitimba ky'abasajja ab'ekyejo: Naye ekikolo eky'abatuukirivu kibala ebibala.
13Mu kusobya kw'emimwa mulimu ekyambika eri omuntu ow'ekyejo: Naye omutuukirivu aliva mu kulaba ennaku.
14Omuntu alikkuta ebirungi olw'ebibala eby'akamwa ke: N'ebikolwa eby'emikono gy'omuntu alibisasulibwa.
15Ekkubo ery'omusirusiru ddungi mu maaso ge ye: Naye ow'amagezi awulira okuweererwa ebigambo.
16Okweraliikirira kw'omusirusiru kumanyibwa mangu ago: Naye omuntu omutegeevu akisa ensonyi.
17Ayatula eby'amazima ayolesa obutuukirivu, Naye omujulirwa ow'obulimba ayolesa obukuusa.
18Wabaawo ayogera ng'ayanguyiriza ng'okufumita okw'ekitala: Naye olulimi lw'ab'amagezi kwe kulaama.
19Omumwa ogw'amazima gunaanywezebwanga emirembe gyonna: Naye olulimi olulimba lwa kaseera buseera.
20Okudyeka kuli mu mitima gy'abo abateesa obubi: Naye abateesa emirembe baba n'essanyu.
21Omutuukirivu talibaako kabi k'aliraba: Naye ab'ekyejo balikkuta obubi.
22Emimwa egirimba gya muzizo eri Mukama: Naye abo abakola eby'amazima b'asanyukira.
23Omuntu omutegeevu akisa okumanya: Naye omutima gw'abasirusiru gulaalika obusirusiru.
24Omukono gw'abanyiikivu gulifuga: Naye omugayaavu balimukoza omulimu ogw'obuddu.
25Ennaku bwe ziba mu mutima gw'omuntu zigukutamya; Naye ekigambo ekirungi kigusanyusa.
26Omutuukirivu aba musaale eri munne: Naye ekkubo ery'ababi libawabya.
27Omuntu omugayaavu tayokya ekyo ky'akutte ng'ayigga; Naye ebintu eby'omuwendo omungi eby'abantu biba bya munyiikivu.
28Mu kkubo ery'obutuukirivu mwe muli obulamu; Ne mu luwenda lw'abo temuli kufa.