Loading Bible Translation
First-time download in progress. This may take a few seconds…
Luganda Holy Bible Wordproject Bible
33 verses
1Okuddamu n'eggonjebwa kukyusa ekuruyi: Naye ekigambo eky'ekkayu kisaanuula obusungu.
2Olulimi lw'ab'amagezi lwogera okumanya nga bwe kisaana: Naye akamwa k'abasirusiru kayiwa obusirusiru.
3Amaaso ga Mukama gaba mu buli kifo, Nga galabirira ababi n'abalungi.
4Olulimi oluwonya muti gwa bulamu: Naye bwe luba n'obukyamu, omwoyo gumenyeka.
5Omusirusiru anyooma okubuulirira kwa kitaawe: Naye oyo assaayo omwoyo eri okunenya afuna obutegeevu.
6Mu nnyumba ey'omutuukirivu mubaamu obugagga bungi: Naye mu magoba ag'omubi mulimu okulaba ennaku.
7Emimwa gy'ab'amagezi gibunya okumanya: Naye omutima gw'abasirusiru si bwe gukola.
8Ssaddaaka ey'omubi ya muzizo eri Mukama: Naye okusaba kw'abagolokofu kw'asanyukira.
9Ekkubo ery'omubi lya muzizo eri Mukama: Naye ayagala oyo agoberera obutuukirivu.
10Waliwo okubuulirirwa okuzibu eri oyo aleka ekkubo lyennyini: Era oyo akyawa okunenyezebwa alifa.
11Amagombe n'okuzikirira biri mu maaso ga Mukama: Kale emitima gy'abaana b'abantu tegisinga nnyo?
12Omunyoomi tayagala kunenyezebwa: Tayagala kugenda eri ab'amagezi:
13Omutima ogujaguza gusanyusa amaaso: Naye obuyinike obw'omutima bwe bumenya omwoyo.
14Omutima gw'oyo alina okutegeera gunoonya okumanya: Naye akamwa k'abasirusiru emmere yaako busirusiru.
15Ennaku zonna ez'abo ababonyaabonyezebwa mbi: Naye oyo alina omutima ogujaguza alya embaga etevaawo.
16Akatono akaliko okutya Mukama Kasinga obugagga bungi obuliko obuyinike.
17Amaluma awali okwagalana Gasinga ente eya ssava awali okukyawagana.
18Omuntu ow'obusungu asaanuula oluyombo: Naye alwawo okusunguwala akkakkanya empaka.
19Ekkubo ery'omugayaavu liri ng'olukomera olw'amaggwa: Naye oluwenda olw'abagolokofu lufuuka oluguudo.
20Omwana ow'amagezi asanyusa kitaawe: Naye omuntu omusirusiru anyooma nnyina.
21Obusirusiru buba ssanyu eri oyo atalina magezi: Naye omuntu alina okutegeera aluŋŋamya amagenda ge.
22Awatali magezi okuteesa kufa: Naye kunywerera mu lufulube lw'abo abateesa ebigambo.
23Omuntu asanyukira okuddamu okw'omu kamwa ke: N'ekigambo ekijjira mu ntuuko zaakyo nga kirungi!
24Eri ow'amagezi ekkubo ery'obulamu lyambuka waggulu, Alyoke ave mu magombe wansi.
25Mukama alisimbula ennyumba ey'ab'amalala: Naye alinyweza ensalo ya nnamwandu.
26Okusala enkwe embi kwa muzizo eri Mukama: Naye ebigambo ebisanyusa biba birongoofu.
27Ayaayaanira amagoba ateganya ennyumba ye ye: Naye akyawa enguzi ye anaabanga omulamu.
28Omutima gw'omutuukirivu gufumiitiriza okwanukula: Naye akamwa k'ababi kafuka ebitasaana.
29Mukama aba wala ababi: Naye awulira okusaba kw'abatuukirivu.
30Omusana ogw'amaaso gusanyusa omutima: N'ebigambo ebirungi bigezza amagumba.
31Okutu okuwulira okunenya okw'obulamu Kunaabeeranga mu b'amagezi.
32Agaana okubuulirirwa anyooma emmeeme ye: Naye oyo awulira okunenya afuna okutegeera.
33Okutya Mukama amagezi kwe gayigiriza; Era okwetoowaza kukulembera ekitiibwa.