Loading Bible Translation
First-time download in progress. This may take a few seconds…
Luganda Holy Bible Wordproject Bible
33 verses
1Okutegeka omutima kugwanira muntu: Naye okwanukula kw'olulimi kuva eri Mukama.
2Amakubo gonna ag'omuntu gaba malongoofu mu maaso ge ye: Naye Mukama apima emyoyo.
3Emirimu gyo giterese Mukama, N'ebirowoozo byo binaanywezebwanga.
4Mukama yakolera buli kintu omulimu gwakyo: Weewaawo, era n'ababi yabakolera olunaku olw'okulabirako ennaku.
5Buli muntu alina omutima ogw'amalala wa muzizo eri Mukama: Omukono newakubadde nga gwegatta n'omukono, taliwona kubonerezebwa.
6Okusaasira n'amazima bye birongoosa obutali butuukirivu: Era okutya Mukama kwe kuggya abantu mu bubi.
7Amakubo ag'omuntu bwe gasanyusa Mukama, Atabaganya naye era n'abalabe be.
8Akatono akaliko obutuukirivu Kakira amagoba mangi wamu n'ebitali bya nsonga.
9Omutima gw'omuntu guteesa ekkubo lye: Naye Mukama ye aluŋŋamya ebigere bye.
10Obulaguzi buba mu mimwa gya kabaka: Akamwa ke tekalisobya mu kusala omusango.
11Ebigera n'eminzaani ebituufu biba bya Mukama: Ebipima byonna eby'omu nsawo mulimu gwe.
12Okukola obubi kwa muzizo eri bakabaka: Kubanga obutuukirivu bwe bunyweza entebe.
13Emimwa emituukirivu bakabaka gye basanyukira; Era baagala oyo ayogera eby'ensonga.
14Obusungu bwa kabaka babaka ba kufa: Naye omuntu ow'amagezi alibukkakkanya.
15Mu musana ogw'amaaso ga kabaka mwe muli obulamu; N'okuganza kwe kire kya mu ttoggo.
16Okufuna amagezi nga kusinga nnyo okufuna zaabu! Weewaawo, okufuna okutegeera kulondebwa okukira ffeeza.
17Olugendo olw'abagolokofu kuleka bubi: Akuuma ekkubo lye awonya emmeeme ye.
18Amalala gakulembera okuzikirira, N'omwoyo ogwegulumiza gukulembera ekigwo.
19Aba n'omwoyo ogwetoowaza wamu n'abaavu Akira agereka omunyago wamu n'ab'amalala.
20Assaayo omwoyo eri ekigambo anaalabanga ebirungi: Era buli eyeesiga Mukama alina omukisa.
21Alina omutima ogw'amagezi banaamuyitanga mutegeevu: N'obuwoomerevu bw'emimwa bwongera okuyiga.
22Okutegeera luzzi lwa bulamu eri nnyini kwo: Naye abasirusiru obusirusiru bwabwe bwe bubabuulirira.
23Omutima gw'ow'amagezi guyigiriza akamwa ke, Ne gwongera okuyiga ku mimwa gye.
24Ebigambo ebisanyusa bisenge bya njuki, Biwoomera emmeeme, era bwe bulamu eri amagumba.
25Waliwo ekkubo omuntu ly'ayita eddungi, Naye enkomerero yaalyo makubo ga kufa.
26Omululu gw'omukozi gumukolera emirimu. Kubanga akamwa ke kamwegayirira.
27Omuntu ataliiko ky'agasa agunja ettima: Era mu mimwa gye mubaamu omuliro ogusonsomola.
28Omuntu omubambaavu asiga empaka: Era omulyolyomi akyayisa ab'omukwano ennyo.
29Omuntu ow'ekyejo asendasenda munne, N'amutwala mu kkubo eritali ddungi.
30Aziba amaaso, kwe kuteesa ebigambo eby'obubambaavu: Aluma emimwa atuukiriza obubi.
31Omutwe oguliko envi ngule ya kitiibwa, Gunaalabikanga mu kkubo ery'obutuukirivu.
32Alwawo okusunguwala asinga ab'amaanyi; N'afuga omwoyo gwe akira amenya ekibuga.
33Akalulu kasuulibwa mu lugoye olw'omu kifuba; Naye okulagira kwako kwonna kuva eri Mukama.