Loading Bible Translation
First-time download in progress. This may take a few seconds…
Luganda Holy Bible Wordproject Bible
28 verses
1Akamere akaluma awamu n'obutereevu Kakira ennyumba ejjudde embaga omuli okuyomba.
2Omuddu akola eby'amagezi alifuga omwana akwasa ensonyi, Era aliba n'omugabo ogw'obusika mu b'oluganda.
3Entamu erongoosa eba ya ffeeza, n'ekikoomi kya zaabu: Naye Mukama ye akema emitima.
4Akola obubi assaayo omwoyo eri emimwa emibi; N'omulimba awulira olulimi olw'ettima.
5Akudaalira omwavu avvoola Omutonzi we: N'oyo asanyukira obuyinike taliwona kubonerezebwa.
6Abaana b'abaana ngule ya bakadde; N'abaana ekitiibwa kyabwe bakitaabwe.
7Okwogera ebikulu tekusaanira musirusiru: Kale emimwa egirimba gisaanira gitya omulangira?
8Ekirabo jjinja lya muwendo mungi mu maaso g'oyo ali nakyo: Gye kikyukira yonna kiraba omukisa.
9Abikka ku kusobya anoonya okwagala: Naye ayeeyereza ekigambo akyayisa ab'omukwano ennyo.
10Okunenya kuyingira nnyo mu nnyini kutegeera Okusinga emiggo kikumi bwe giyingira mu musirisuru.
11Omuntu omubi anoonya bujeemu bwereere; Omubaka omukambwe kyaliva atumibwa okumukwata.
12Eddubu enyagiddwako abaana baayo esisinkane n'omuntu, Aleme okusisinkana n'omusirusiru mu busirusiru bwe.
13Asasula obubi olw'obulungi, Obubi tebuliva ku nnyumba ye.
14Okutanula okuyomba kuli ng'omuntu bw'aggulira amazzi: Kale olekanga okuwakana nga tewannabaawo kuyomba.
15Awa omubi obutuukirivu n'oyo asalira omutuukirivu okumusinga, Bombi benkana okuba ab'omuzizo eri Mukama.
16Kiki ekibeesaawo omuwendo mu mukono gw'omusirusiru okugula amagezi, Nga talina kutegeera?
17Ow'omukwano ayagala mu biro byonna, Era ow'oluganda yazaalirwa obuyinike.
18Omuntu abulwa okutegeera akuba mu ngalo, N'afuuka omuyima mu maaso ga munne.
19Ayagala okuyomba ayagala okusobya: Agulumiza ennyo omulyango gwe anoonya okuzikirira.
20Alina omutima omubambaavu taliiko bulungi bw'alaba: N'oyo alina olulimi olukyamu agwa mu bubi.
21Azaala omusirusiru yeereetako obuyinike: Era kitaawe w'omusirusiru talina ssanyu.
22Omutima ogujaguza ddagala ddungi: Naye omwoyo ogumenyese gukaza amagumba.
23Omuntu omubi aggya enguzi mu kifuba, Okukyamya amakubo ag'okusala omusango.
24Amagezi gaba mu maaso g'oyo alina okutegeera: Naye amaaso g'omusirusiru gaba mu njuyi z'ensi ezikomererayo.
25Omwana omusirusiru buyinike bwa kitaawe, Era bubalagaze bwa mukazi eyamuzaala.
26Era okubonereza omutuukirivu si kulungi, Newakubadde okukuba abalungi ng'obalanga obugolokofu bwabwe,
27Aziyiza ebigambo bye alina okumanya: N'oyo alina omwoyo ogw'emmizi muntu mutegeevu.
28Era n'omusirusiru bw'asirika bamuyita wa magezi: Bw'abuniza emimwa gye bamulowooza nga mutegeevu.