Loading Bible Translation
First-time download in progress. This may take a few seconds…
Luganda Holy Bible Wordproject Bible
24 verses
1Eyeeyawula anoonya kye yeegomba yekka, Era alalukira amagezi gonna amatuufu.
2Omusirusiru tasanyukira kutegeera, Naye omutima gwe gwebikkule bwebikkuzi.
3Omubi bw'ajja, n'okunyooma kujja, Era awamu n'okuswazibwa ne wajja n'okuvumibwa.
4Ebigambo eby'omukamwa k'omuntu mazzi ga buziba: Oluzzi olw'amagezi mugga ogukulukuta.
5Okukkiriza amaaso g'omubi si kulungi, Newakubadde okugoba omutuukirivu bw'awoza.
6Emimwa gy'omusirusiru giyingira mu nnyombo, Akamwa ke ne kasaba emiggo.
7Akamwa k'omusirusiru kwe kuzikirira kwe, N'emimwa gye kye kyambika eky'emmeeme ye.
8Ebigambo eby'omugeyi biri ng'ebiwundu, Era bikka mu bisenge eby'omu lubuto.
9Era n'oyo atenguwa ng'akola emirimu Ye muganda w'oyo azikiriza.
10Erinnya lya Mukama kigo kya maanyi: Omutuukirivu addukira omwo n'aba mirembe.
11Omugagga obugagga bwe kye kibuga kye eky'amaanyi, Era bbugwe muwanvu mu kulowooza kwe ye.
12Okuzikiriza nga tekunnabaawo omutima gw'omuntu gwegulumiza, Era okwetoowaza kukulembera ekitiibwa.
13Addamu nga tannawulira, Busirusiru n'ensonyi gy'ali.
14Omwoyo gw'omuntu gunaawaniriranga obunafu bwe; Naye omwoyo omumenyefu ani ayinza okugugumiikiriza?
15Omutima gw'omutegeevu gufuna okumanya; N'okutu kw'ab'amagezi kunoonya okumanya.
16Ekirabo eky'omuntu kimuseguliza, Era kimutuusa mu maaso g'abakulu.
17Asooka okuwoza afaanana nga ye mutuukirivu; Naye munne n'ajja n'amukebera.
18Akalulu kalekesaayo ennyombo, Era kalamula ab'amaanyi.
19Ow'oluganda anyiize kizibu okumufuna okusinga ekibuga eky'amaanyi: Era ennyombo eziri bwe zityo ziri ng'ebisiba eby'ekigo.
20Olubuto lw'omuntu lulikkuta ebibala eby'akamwa ke; Ekyengera eky'omu mimwa gye kirimumala.
21Okufa n'obulamu biba mu buyinza bw'olulimi; N'abo abalwagala balirya ebibala byalwo.
22Alaba omukazi okumufumbirwa alaba ekirungi, Era afuna okuganja eri Mukama.
23Omwavu yeegayirira: Naye omugagga addamu n'ebboggo.
24Akwana emikwano emingi yeereetako okuzikirira: Naye waliwo ow'omukwano eyeegatta ennyo okusinga ow'oluganda.