Loading Bible Translation
First-time download in progress. This may take a few seconds…
Luganda Holy Bible Wordproject Bible
29 verses
1Omwavu atambulira mu butayonoona bwe Akira ow'emimwa emikyamu era omusirusiru.
2Era emmeeme obutaba na kumanya si kirungi; N'oyo ayanguyiriza n'ebigere bye ayonoona.
3Obusirusiru bw'omuntu bwe buvuunika ekkubo lye; N'omutima gwe gunyiigira Mukama.
4Obugagga bwongera emikwano mingi: Naye omwavu akyawagana ne mukwano gwe.
5Omujulirwa ow'obulimba taliwona kubonerezebwa; N'oyo ayogera eby'okudyeka talirokoka.
6Bangi abalimusaba omugabagabanyi obuganzi: Era buli muntu aba mukwano gw'oyo awa ebirabo.
7Omwavu baganda be bonna bamukyawa: Mikwano gye tebasinga nnyo kumwewala! Abayigganya n'ebigambo, naye nga bagenze.
8Afuna amagezi ayagala emmeeme ye: Anyweza okutegeera aliraba ebirungi.
9Omujulirwa ow'obulimba taliwona kubonerezebwa; Naye ayogera eby'obulimba alizikirira.
10Okwekanasa tekusaanira musirusiru; Kale omuddu okufuga abalangira kusaana kutya?
11Okuteesa kw'omuntu kwe kumulwisaawo okusunguwala; Era okusonyiwa ekyonoono kye kitiibwa kye.
12Obusungu bwa kabaka buli ng'okuwuluguma kw'empologoma; Naye obuganzi bwe musulo ku ssubi.
13Omwana omusirusiru nnaku za kitaawe: N'okuyomba kw'omukazi kwe kutonnya olutata.
14Ennyumba n'obugagga bwe busika obuva eri bakitaabwe: Naye omukazi omutegeevu ava eri Mukama.
15Obugayaavu buleeta otulo tungi; N'omuntu atakola mulimu alirumwa enjala.
16Akuuma ekiragiro akuuma emmeeme ye: Naye atassaayo mwoyo eri amakubo ge alifa.
17Asaasira omwavu awola Mukama, Era alimusasula nate ekikolwa kye ekirungi.
18Kangavvulanga omwana wo, kubanga essuubi weeriri; So teweegomba kuzikirira kwe.
19Omuntu ow'ekiruyi ekingi aliriwa: Kubanga bw'olimuwonya kirigwanira okukola bw'otyo nate omulundi ogw'okubiri.
20Wuliranga okuteesa, okkirizenga okuyigirizibwa, Obeere n'amagezi enkomerero yo ng'etuuse.
21Mu mutima gw'omuntu mulimu okufumiitiriza kungi; Naye okuteesa kwa Mukama kwe kunaanyweranga.
22Omuntu ekimwagaza kisa kye: N'omwavu akira omulimba.
23Okutya Mukama kuleeta bulamu: N'oyo ali nakwo anaabeereranga awo nga kumumala; Talijjirwa bubi.
24Omugayaavu annyika omukono gwe mu kibya, So tayagala na kuguzza nate ku kamwa ke.
25Kuba omunyoomi, atalina magezi anaayiga obutegeevu: Era buulirira alina okutegeera; era anaategeera okumanya.
26Anyaga kitaawe n'agoba nnyina, Ye mwana akwasa ensonyi era aleeta ekivume.
27Mwana wange, lekanga okuwulira okuyigirizibwa, Okuleeta okukyama obukyami okuva mu bigambo eby'okumanya.
28Omujulirwa ataaliiko ky'agasa akudaalira omusango: N'akamwa k'ababi kamira obutali butuukirivu.
29Emisango gyategekerwa abanyoomi, N'emiggo gyategekerwa amabega g'abasirusiru.