Loading Bible Translation
First-time download in progress. This may take a few seconds…
Luganda Holy Bible Wordproject Bible
30 verses
1Omwenge mukudaazi, ekitamiiza muleekaanyi; Era buli akyama olw'ebyo talina magezi.
2Entiisa ya kabaka kuwuluguma kwa mpologoma: Amusunguwaza ayonoona obulamu bwe ye.
3Omuntu eyeewala ennyombo yeefunira ekitiibwa: Naye buli musirusiru ayagala okuyombanga.
4Omugayaavu taganya kulima olwa ttoggo; Kyanaavanga asabiriza okukungula nga kutuuse n'ataba na kintu.
5Okuteesa okw'omu mutima gw'omuntu kuli ng'amazzi ag'omu luzzi oluwanvu; Naye omuntu alina okutegeera alikusena.
6Abantu bangi abalirangira buli muntu ekisa kye ye: Naye omuntu omwesigwa ani ayinza okumulaba?
7Omuntu omutuukirivu atambulira mu butayonoona bwe, Abaana be abaddawo balina omukisa.
8Kabaka atudde ku ntebe esalirwako emisango Asaasaanya obubi bwonna n'amaaso ge.
9Ani ayinza okwogera nti Nnongoosezza omutima gwange, Ndi mulongoofu mu kwonoona kwange?
10Ebipima ebitenkana n'ebigera ebitenkana Byombi bya muzizo eri Mukama.
11Era n'omwana omuto yeemanyisa olw'ebikolwa bye, Omulimu gwe oba nga mulongoofu, oba nga mulungi.
12Okutu okuwulira, n'eriiso eriraba, Mukama ye yakola byombi.
13Toyagalanga kwebaka oleme okutuuka mu bwavu; Zibulanga amaaso go, onokkutanga emmere.
14Tekiriiko kye kigasa, tekiriiko kye kigasa, bw'ayogera agula: Naye ng'amaze okugenda n'alyoka yeenyumiriza.
15Waliwo zaabu n'amayinja amatwakaavu mangi nnyo: Naye emimwa egy'okumanya kya buyonjo kya muwendo mungi.
16Twalanga ekyambalo ky'oyo eyeeyimirira gw'atamanyi; Era obowenga oyo eyeeyimirira b'atamanyi.
17Emmere ey'obulimba ewoomera omuntu; Naye oluvannyuma akamwa ke kalijjula omusenyu.
18Buli kigambo ky'omalirira kinywezebwa na kuteesa: Era tabaalanga n'okukulemberwa okw'amagezi.
19Atambulatambula ng'alyolyoma abikkula ebyama: Kale teweetabulanga n'oyo ayasama ennyo emimwa gye.
20Akolimira kitaawe oba nnyina, Ettabaaza ye erizikizibwa mu kizikiza ekikutte zigizigi.
21Obusika buyinzika okufunibwa amangu olubereberye; Naye enkomerero yaabwo teriba na mukisa.
22Toyogeranga nti Ndisasula obubi: Lindiriranga Mukama naye anaakuwonyanga.
23Ebipima ebitenkana bya muzizo eri Mukama; Ne minzaani ey'obulimba si nnungi.
24Amagenda g'omuntu gava eri Mukama; Kale nno omuntu ayinza atya okutegeera ekkubo lye?
25Kyambika eri omuntu, okwogera ng'ayanguyiriza nti Kitukuvu, Awo ng'amaze okweyama n'alyoka abuuza.
26Kabaka ow'amagezi awewa ababi, Era abaleetako nnamuziga ewuula.
27Omwoyo gw'omuntu ye ttabaaza ya Mukama, Ekebera ebitundu byonna eby'olubuto eby'omunda.
28Okusaasira n'amazima biwonya kabaka: Era okusaasira kwe kuwanirira entebe ye.
29Abalenzi ekitiibwa kyabwe maanyi gaabwe: N'abakadde omutwe oguliko envi bwe bulungi bwabwe.
30Emiggo egiruma gimalawo obubi: N'enga zituuka mu bitundu eby'olubuto eby'omunda.