Loading Bible Translation
First-time download in progress. This may take a few seconds…
Luganda Holy Bible Wordproject Bible
31 verses
1Omutima gwa kabaka guli mu mukono gwa Mukama ng'emigga: Agukyusa gy'ayagala yonna.
2Buli kkubo ery'omuntu ddungi mu maaso ge ye: Naye Mukama ye apima emitima.
3Okukola eby'ensonga n'eby'omusango Kukkirizibwa Mukama okusinga ssaddaaka.
4Amaaso ageegulumiza n'omutima ogw'amalala, Ye ttabaaza ey'ababi, kwe kwonoona.
5Ebirowoozo eby'omunyiikivu bireeta bungi bwereere Naye buli muntu ayanguyiriza ayanguya okwetaaga obwetaazi.
6Okufuna obugagga n'olulimi olulimba Mukka ogutwalibwa eruuyi n'eruuyi; ababunoonya banoonya okufa.
7Ekyejo eky'ababi kiribamalawo; Kubanga bagaana okukola eby'ensonga.
8Ekkubo ly'oyo eyeebinise omusango likyamakyama nnyo nnyini: Naye omulongoofu omulimu gwe mulungi.
9Beeranga ku nnyumba waggulu awafunda Olemenga okubeera n'omukazi omuyombi mu nnyumba engazi.
10Emmeeme y'omubi yeegomba obubi: Munne taganja n'akamu mu maaso ge.
11Omunyoomi bw'abonerezebwa, atalina magezi agafuna: Era ow'amagezi bw'ayigirizibwa aweebwa okumanya.
12Omuntu omutuukirivu alowooza ennyumba ey'omubi; Ababi bwe basuulibwa ne babula.
13Aziba amatu ge omwavu bw'akaaba, Era naye alikaaba, naye taliwulirwa.
14Ekirabo eky'omu kyama kikkakkanya obusungu, N'ekitone eky'omu kifuba kikkakkanya ekiruyi ekingi.
15Okukolanga eby'ensonga ssanyu lya mutuukirivu. Naye kuzikirira eri abakola ebitali bya butuukirivu.
16Omuntu awaba okuva mu kkubo ery'okutegeera Aliwummulira mu kkuŋŋaaniro ery'abafu.
17Ayagala essanyu anaabanga mwavu: Ayagala omwenge n'amafuta taabenga mugagga.
18Omubi aba kinunulo kya mutuukirivu; N'oyo asala enkwe adda mu kifo ky'abagolokofu.
19Beeranga mu nsi ey'eddungu Olemenga okubeera n'omukazi omuyombi anyiiganyiiga.
20Mu nnyumba ey'omutuukirivu mulimu obugagga obw'omuwendo omungi n'amafuta; Naye omusirusiru abumira.
21Agoberera obutuukirivu n'okusaasira Alaba obulamu n'obutuukirivu n'ekitiibwa.
22Omuntu ow'amagezi alinnya mu kibuga eky'ab'amaanyi, N'akkakkanya amaanyi ag'obugumu bwakyo.
23Buli akuuma akamwa ke n'olulimi lwe Akuuma emmeeme ye obutalaba nnaku.
24Omuntu ow'amalala eyeegulumiza, erinnya lye munyoomi, Akolera emirimu mu ttitimbuli ery'amalala.
25Okwegomba okw'omugayaavu kumutta; Kubanga emikono gye gigaana okukola emirimu.
26Wabaawo ayaayaana ennyo okuzibya obudde: Naye omutuukirivu awa n'atamma.
27Ssaddaaka ey'ababi ya muzizo: Bw'agireeta n'emmeeme embi, tesinga nnyo kuba ya muzizo?
28Omujulirwa ow'obulimba anaabulanga: Naye omuntu awulira anaayogeranga nga tewali amulimbulula.
29Omuntu omubi akakanyaza amaaso ge: Naye omugolokofu aliraanya amakubo ge.
30Tewali magezi newakubadde okutegeera Newakubadde okuteesa ku Mukama.
31Embalaasi etegekerwa olunaku olw'olutalo. Naye okuwangula kuva eri Mukama.