Loading Bible Translation
First-time download in progress. This may take a few seconds…
Luganda Holy Bible Wordproject Bible
29 verses
1Erinnya eddungi lya kulondebwa okusinga obugagga obungi, N'okuganja n'okwagalwa okusinga ffeeza ne zaabu.
2Omugagga n'omwavu baalabagana: Mukama ye yabatonda bonna.
3Omuntu omutegeevu alaba akabi ne yeekweka: Naye abatalina magezi bayita buyisi ne bafiirwa.
4Obugagga n'ekitiibwa n'obulamu Ye mpeera ey'okwetoowazanga n'okutyanga Mukama.
5Amaggwa n'ebyambika biri mu kkubo ery'omubambaavu: Akuuma emmeeme ye alibibeera wala.
6Manyiiza omwana omuto mu kkubo erimugwanira okutambuliramu, Awo newakubadde nga mukadde talirivaamu.
7Omugagga afuga abaavu, N'eyeewola aba muddu w'awola.
8Asiga obutali butuukirivu alikungula obuyinike: N'omuggo ogw'obusungu bwe guliggwaawo.
9Alina eriiso erigabaagaba anaabanga n'omukisa; Kubanga awa omwavu ku mmere ye.
10Gobanga omunyoomi, n'okuyomba kunaavangawo; Weewaawo, okuwakana n'okuswazibwa birikoma.
11Ayagala omutima omulongoofu, Olw'ekisa eky'omu mimwa gye kabaka kyanaavanga abeera mukwano gwe.
12Amaaso ga Mukama gakuuma oyo alina okumanya, Naye asuula ebigambo eby'omuntu asala enkwe.
13Omugayaavu ayogera nti Empologoma eri bweru: N'attirwa mu nguudo.
14Akamwa k'abakazi abagenyi bunnya buwanvu: Akyayibwa Mukama aligwa omwo.
15Obusirusiru busibibwa mu mutima gw'omwana omuto; Naye omuggo ogukangavvula gulibugobera wala okuva gy'ali.
16Ajooga omwavu okwongera ku magoba ge, N'oyo agabira omugagga batuuka mu kwetaaga bwetaazi.
17Tega okutu kwo owulire ebigambo eby'ab'amagezi, Era ssaayo omutima gwo eri okumanya kwange.
18Kubanga kigambo kya ssanyu bw'obeera nabyo mu nda yo, Bwe binywerera wamu ku mimwa gyo.
19Obwesige bwo bube eri Mukama, Kyenvudde nkubimanyisa leero ggwe.
20Sikuwandiikidde birungi nnyo nnyini Eby'okuteesa n'eby'okumanya;
21Okukutegeeza ebigambo eby'amazima bwe bitabuusibwabuusibwa, Olyoke obaddize ebigambo eby'amazima abo abakutuma?
22Tonyaganga mwavu kubanga mwavu, So tojooganga abonyaabonyezebwa mu mulyango:
23Kubanga Mukama ye aliwoza ensonga yaabwe, Era abo ababanyaga alibanyagako obulamu.
24Tokwananga muntu wa busungu: Togendanga na muntu ow'ekiruyi:
25Olemenga okuyiga amakubo ge, N'ofunira emmeeme yo ekyambika.
26Tobanga ku muwendo gw'abo abakuba mu ngalo, Newakubadde ogw'abo abeeyimirira amabanja:
27Oba nga tolina kya kusasula, Lwaki akuggirawo ekitanda kyo wansi wo?
28Tojjululanga kabonero ka nsalo ak'edda, Bajjajjaabo ke baasimba.
29Olaba omuntu anyiikira mu mulimu gwe? aliyimirira mu maaso ga bakabaka; Taliyimirira mu maaso ga bakopi.