Loading Bible Translation
First-time download in progress. This may take a few seconds…
Luganda Holy Bible Wordproject Bible
35 verses
1Mwana wange, teweerabiranga tteeka lyange; Naye omutima gwo gukwatenga ebiragiro byange;
2Kubanga ennaku ennyingi n'emyaka egy'okuwangaala N'emirembe bye birikwongerwako.
3Okusaasira n'amazima tebikulekanga: Bisibenga mu bulago bwo; Biwandiikenga ku bipande eby'omutima gwo:
4Bw'onoolabanga bw'otyo okuganja n'okutegeera okulungi Mu maaso ga Katonda n'ag'abantu.
5Weesigenga Mukama n'omutima gwo gwonna. So teweesigamanga ku kutegeera kwo ggwe:
6Mwatulenga mu makubo go gonna, Kale anaaluŋŋamyanga olugendo lwo.
7Tobanga na magezi mu maaso go ggwe; Tyanga Mukama ove mu bubi:
8Ekyo kye kinaabanga obulamu eri ekkundi lyo, N'obusomyo eri amagumba go.
9Ossangamu ekitiibwa Mukama n'ebintu byo, N'ebibereberye ku bibala byo byonna:
10Amawanika go bwe ganajjulanga bwe gatyo ekyengera, N'amasogolero go ganaayiikanga omwenge omusu.
11Mwana wange, tonyoomanga kubuulirira kwa Mukama; So n'okunenya kwe kulemenga okukukooya:
12Kubanga Mukama gw'ayagala gw'anenya; Era nga kitaawe omwana we gw'asanyukira.
13Aweereddwa omukisa omuntu alaba amagezi. N'oyo afuna okutegeera.
14Kubanga obuguzi bwago businga obuguzi obwa ffeeza, N'amagoba gaago gakira zaabu ennungi.
15Ga muwendo mungi okusinga amayinja amatwakaavu: So tewali kintu ky'oyinza okwegomba ebyenkanyankanyizibwa nago.
16Okuwangaala kuli mu mukono gwago ogwa ddyo; Mu mukono gwago ogwa kkono mulimu obugagga n'ekitiibwa.
17Amakubo gaago makubo ga kusanyukiramu, N'eŋŋendo zaago zonna mirembe.
18Ago gwe muti ogw'obulamu eri abo abagakwata: Era alina omukisa buli muntu abeera nago.
19Mukama yassaawo emisingi gy'ensi n'amagezi; Yanyweza eggulu n'okutegeera.
20Ennyanja yayabika n'okumanya kwe, Eggulu ne litonnya omusulo.
21Mwana wange, ebyo tebivanga ku maaso go; Kwatanga amagezi amatuufu n'okuteesa;
22Bwe binaabanga bwe bityo obulamu eri emmeeme yo, N'obuyonjo eri obulago bwo.
23Awo lw'olitambulira mu kkubo lyo mirembe, So n'ekigere kyo tekiryesittala.
24Bw'onoogalamiranga tootyenga: Weewaawo, onoogalamiranga n'otulo two tunaakuwoomeranga.
25Totyanga ntiisa gy'otomanyiridde, Newakubadde okuzikiriza okw'ababi bwe kujjanga:
26Kubanga Mukama ye anaabanga obwesige bwo, Era ye anaakuumanga ekigere kyo olemenga okuwambibwa
27Tommanga birungi abo abagwanira, Bwe kiri mu buyinza bw'omukono gwo okubikola.
28Togambanga muliraanwa wo nti Genda okomewo, Enkya ndikuwa; Bwe kiri naawe.
29Tosaliranga munno bubi, Kubanga abeera gy'oli mirembe
30Toyombanga na muntu awatali nsonga, Oba nga taliiko bubi bw'akukoze.
31Tokwatirwanga buggya omusajja ow'amawaggali, So teweerobozanga makubo ge gonna.
32Kubanga omukyamu wa muzizo eri Mukama: Naye ekyama kye kiri n'abagolokofu.
33Ekikolimo kya Mukama kiri mu nnyumba ey'omubi: Naye awa omukisa ekifo abatuukirivu mwe babeera.
34Mazima anyooma abanyoomi, Naye awa abeetoowaza ekisa.
35Ab'amagezi balisikira ekitiibwa: Naye ensonyi ze ziriba okukuzibwa okw'abasirusiru.