Loading Bible Translation
First-time download in progress. This may take a few seconds…
Luganda Holy Bible Wordproject Bible
27 verses
1Baana bange, muwulirenga okuyigiriza kwa kitammwe, Mutegenga amatu okumanya okutegeera:
2Kubanga mbawa okuyiga okulungi; Temuvanga mu tteka lyange.
3Kubanga nali mwana eri kitange, Omugonvu era eyayagalibwanga nzekka mu maaso ga mmange.
4Era yanjigirizanga n'aŋŋamba nti Omutima gwo gunywezenga ebigambo byange; Kwatanga ebiragiro byange obeerenga omulamu:
5Funa amagezi, funa okutegeera; Togeerabiranga so tovanga mu bigambo eby'omu kamwa kange:
6Togalekanga, nago ganaakukuumanga; Ogaagalanga nago ganaakulindanga.
7Amagezi kye kigambo ekisinga obukulu; kale funa amagezi: Weewaawo funanga okutegeera n'ebyo byonna bye wafunanga.
8Gagulumizenga nago galikukuza: Galikutuusa mu kitiibwa, bw'onoogawambaatiranga.
9Galiwa omutwe gwo engule ey'obuyonjo: Galikugabira enkuufiira ey'obulungi.
10Ai mwana wange, wulira okkirizenga ebigambo byange; N'emyaka egy'obulamu bwo giriba mingi.
11Naakuyigiriza ekkubo ery'amagezi; Naakuluŋŋamya mu makubo ag'obugolokofu.
12Bw'onootambulanga ebigere byo tebiifundikirwenga; Era bw'onoddukanga teweesittalenga.
13Nywerezanga ddala okuyigirizibwa; tokutanga: Kukwatenga; kubanga bwe bulamu bwo.
14Toyingiranga mu kkubo ery'ababi, So totambuliranga mu lugendo olw'abasajja ababi.
15Olwesambanga, toluyitangako; Okyukanga okuluvaamu, weeyongerenga mu maaso.
16Kubanga tebeebaka wabula nga bamaze okukola akabi; N'otulo tubaggibwako wabula nga baliko be bagwisizza.
17Kubanga balya emmere ey'obubi, Ne banywa omwenge ogw'okugira ekyejo.
18Naye ekkubo ery'abatuukirivu liriŋŋanga omusana ogwakayakana, Ogweyongerayongera okwaka okutuusa obudde lwe butuukirira.
19Ekkubo ery'ababi liriŋŋanga ekizikiza: Tebamanyi ekibeesittaza.
20Mwana wange, ssangayo omwoyo eri ebigambo byange; Teganga okutu eri okwogera kwange.
21Tebivanga ku maaso go; Bikuumirenga wakati mu mutima gwo.
22Kubanga ebyo bwe bulamu eri abo ababiraba, Era kwe kulama eri omubiri gwabwe gwonna.
23Onyiikiranga nnyo nnyini okukuumanga omutima gwo; Kubanga omwo mwe muva ensulo ez'obulamu.
24Weggyengako akamwa akabambaavu, N'emimwa emikyamu ogyewalanga nnyo.
25Amaaso go galuŋŋamirenga ddala, N'ebikowe byo bitunuulirenga ddala emberi yo.
26Tereezanga ekkubo ery'ebigere byo, Era amagenda go gonna ganywerenga.
27Tokyamiranga ku mukono ogwa ddyo newakubadde ku gwa kkono: Ggyawo ekigere kyo obutakola bubi.