Loading Bible Translation
First-time download in progress. This may take a few seconds…
Luganda Holy Bible Wordproject Bible
23 verses
1Mwana wange, ssangayo omwoyo eri amagezi gange; Teganga okutu eri okutegeera kwange:
2Olyoke okuumenga okuteesa, N'emimwa gyo gikwatenga okumanya.
3Kubanga emimwa gy'omukazi omugenyi gitonnya omubisi gw'enjuki, N'akamwa ke kasinga amafuta obugonvu:
4Naye enkomerero ey'oluvannyuma ekaawa ng'omususa, Esala ng'ekitala eky'obwogi obubiri.
5Ebigere bye bikka mu kufa; Ebisinde bye bikwata amagombe;
6N'okulaba talaba kkubo ttereevu ery'obulamu: Amakubo ge gasagaasagana, so takimanyi.
7Kale nno, baana bange, mumpulirenga, So temuvanga mu bigambo eby'omu kamwa kange.
8Ekkubo lyo limwesambire ddala, So tosembereranga luggi lwa nnyumba ye:
9Olemenga okuwa abalala ekitiibwa kyo, N'emyaka gyo eri omukambwe.
10Abagenyi balemenga okukkuta amaanyi go; N'emirimu gyo giremenga okubeera mu nnyumba y'omunnaggwanga;
11Naawe n'onakuwala enkomerero yo ng'etuuse Ennyama yo n'omubiri gwo bwe birimalibwawo,
12N'oyogera nti Nga nakyawanga okuyigirizibwa, Omutima gwange ne gunyoomanga okunenyezebwa;
13So saagonderanga ddoboozi lya bayigiriza bange, So saateganga kutu kwange eri abo abanjigirizanga!
14Nabulako katono okuba mu bubi bwonna Wakati mu kkuŋŋaaniro n'ekibiina.
15Onyweranga amazzi mu kidiba kyo ggwe, N'amazzi agakulukuta mu luzzi lwo ggwe.
16Ensulo zo zandisaasaanidde ddala, Emigga egy'amazzi ne giba mu nguudo?
17Gabeereranga ddala gago wekka, So si ga bagenyi wamu naawe.
18Ensulo yo ebeerenga n'omukisa; Era sanyukiranga omukazi ow'omu buvubuka bwo.
19Ng'ennangaazi ekwagala n'empeewo ekusanyusa, Amabeere ge gakumalenga mu biro byonna; Era osanyukirenga bulijjo okwagala kwe.
20Kubanga lwaki ggwe okusanyukiranga omukazi omugenyi, mwana wange, N'ogwa mu kifuba ky'atali wuwo?
21Kubanga amakubo g'abantu gali mu maaso ga Mukama, Era atereeza eŋŋendo ze zonna.
22Obutali butuukirivu bwe ye bulikwata omubi, Era alisibibwa n'emigwa egy'okwonoona kwe,
23Alifa olw'okubulwa okuyigirizibwa; Era olw'obusirusiru bwe obungi aliwaba.