Loading Bible Translation
First-time download in progress. This may take a few seconds…
Luganda Holy Bible Wordproject Bible
36 verses
1Amagezi tegoogerera waggulu N'okutegeera tekuleeta ddoboozi lyakwo?
2Enguudo we zisibuka mu kkubo Mu masaŋŋanzira we gayimirira;
3Ku mabbali g'emiryango awayingirirwa mu kibuga, Abantu we bayingirira awali enzigi googerera waggulu:
4Mmwe abasajja, mbakoowoola; N'eddoboozi lyange liri eri abaana b'abantu.
5Mmwe abatalina magezi, mutegeerenga obukabakaba; Nammwe, abasirusiru, mubeerenga n'omutima ogutegeera.
6Muwulire, kubanga naayogera ebigambo ebirungi ennyo; N'okwasama emimwa gyange kunaavaamu eby'ensonga.
7Kubanga akamwa kange kanaayogera eby'amazima; N'obubi bwa muzizo eri emimwa gyange.
8Ebigambo byonna eby'omu kamwa kange biri mu butuukirivu; Mu byo temuli kintu ekikyamakyama newakubadde ekyenyodde.
9Byonna byangu eri oyo ategeera, Era bya nsonga eri abo abalaba okumanya.
10Mukkirize okuyigiriza kwange so si ffeeza; N'okumanya okukira zaabu ennonde.
11Kubanga amagezi gasinga amayinja amatwakaavu; N'ebintu byonna ebiyinzika okwegombebwa tebyenkanyankanyizibwa nago.
12Nze amagezi nfudde obukabakaba okuba ennyumba yange Era nnoonya okumanya n'okuteesa.
13Okutya Mukama kwe kukyawa obubi; Amalala n'essukuti n'ekkubo ebbi N'akamwa akabambaavu bye nkyawa.
14Okuteesa kwange n'okumanya okutuufu: Nze ndi kutegeera; nnina amaanyi.
15Ku bwange bakabaka bafuga, Abalangira ne bateeka eby'obutuukiruvu.
16Ku bwange abalangira bafuga, N'abakungu, abalamuzi bonna ab'oku nsi:
17Njagala abo abanjagala; N’abo abanyiikira okunnoonya balindaba.
18Obugagga n’ekitiibwa biri nange; Wewaawo, obugagga obw’enkalakkalira n’obutuukirivu.
19Ebibala byange bisinga zaabu obulungi, weewaawo, zaabu ennungi; N'amagoba gange gakira ffeeza ennonde.
20Ntambulira mu kkubo ery'obutuukirivu, Wakati mu mpenda ez'okusala emisango:
21Ndyoke mpe abo abanjagala okusikira ebintu, Era njijuze amawanika gaabwe.
22Mukama yali nange ekkubo lye we lyasookera, Okusooka emirimu gye egy'edda.
23Nateekebwawo okuva emirembe n'emirembe, okuva ku lubereberye, Ensi nga tennabaawo.
24Nga tewannabaawo buziba, nazaalibwa; Ensulo ezijjudde amazzi nga tezinnabaawo.
25Ensozi nga tezinnaba kussibwawo, Nasooka obusozi okuzaalibwa:
26Ye nga tannatonda nsi newakubadde ennimiro, Newakubadde enfuufu ey'ensi eyasooka.
27Bwe yanyweza eggulu, nze naliyo: Bwe yakulunga amaaso g'obuziba:
28Bwe yanyweza eggulu waggulu: Ensulo ez'ennyanja bwe zaafuuka ez'amaanyi:
29Bwe yawa ennyanja ensalo yaayo, Amazzi galemenga okusobya ekiragiro kye: Bwe yalamba emisingi gy'ensi:
30Kale nze nga ndi awo gy'ali ng'omukoza: Era bulijjo yansanyukiranga, Nga njaguliza bulijjo mu maaso ge;
31Nga nsanyukira ensi ye ebeerekamu; N'essanyu lyange lyali n'abaana b'abantu.
32Kale nno, baana bange, mumpulirenga: Kubanga balina omukisa abakwata amakubo gange.
33Muwulirenga okuyigirizibwa mubenga n’amagezi, So temugagaananga.
34Alina omukisa omuntu ampulira, Ng'atunuulira bulijjo ku nzigi zange, Ng'alinda awali emifuubeeto gy'enzigi zange.
35Kubanga buli alaba nze alaba bulamu, Era alifuna okuganja eri Mukama.
36Naye oyo annyonoona asobya obulamu bwe ye: Bonna abakyawa nze baagala okufa.