Loading Bible Translation
First-time download in progress. This may take a few seconds…
Luganda Holy Bible Wordproject Bible
18 verses
1Amagezi gazimbye ennyumba yaago, Gatemye empagi zaago musanvu:
2Gasse ensolo zaago; gatabudde omwenge gwago; Era gategese emmeeza yaago.
3Gasindise abawala baago, googerera waggulu. Ku bifo eby'omu kibuga ebisinga obugulumivu,
4Nti Buli atalina magezi akyamire muno: Oyo abulwa okutegeera gamugamba nti
5Mujje mulye ku mmere yange, Era munywe ku mwenge gwe ntabudde.
6Mulekenga, mmwe abatalina magezi, mubeerenga abalamu; Era mutambulirenga mu kkubo ery'okutegeera.
7Anenya omukudaazi yeeswaza: N'oyo abuulirira omubi yeetonnyezaako ebbala.
8Tobuuliriranga mukudaazi aleme okukukyawa: Buuliriranga ow'amagezi, anaakwagalanga.
9Yigirizanga ow'amagezi, aneeyongeranga okuba n'amagezi: Yigirizanga omutuukirivu, aneeyongeranga okuyita.
10Mu kutya Mukama amagezi mwe gasookera: N'okumanya oyo Omutukuvu kwe kutegeera.
11Kubanga ku bwange ennaku zo ziryongerwa, N’emyaka egy’obulamu bwo girisukkirizibwa.
12Oba nga olina amagezi, weebeera n’amagezi wekka: Era bw’onoonyoomanga, kuliba ku ggwe wekka.
13Omukazi omusirisiru aleekaana; Talina magezi, so taliiko ky'amanyi.
14Era atuula ku mulyango gw'ennyumba ye, Ku ntebe mu bifo eby'omu kibuga ebigulumivu,
15Okuyita abo abayitawo, Abakwatira ddala amakubo gaabwe,
16Nti Buli atalina magezi akyamire muno: N'oyo abulwa okutegeera amugamba nti
17Amazzi amabbe ge gawooma, N'emmere eriirwa mu kyama ye esanyusa.
18Naye tamanyi ng'abafu bali eyo: Ng'abagenyi be bali mu buziba bw'emagombe.