Loading Bible Translation
First-time download in progress. This may take a few seconds…
Luganda Holy Bible Wordproject Bible
6 verses
1Alina omukisa omuntu atatambulira mu kuteesa kw'ababi, Newakubadde okuyimirira mu kkubo ly'abo abalina ebibi, Newakubadde okutuula ku ntebe y'abanyooma.
2Naye amateeka ga Mukama ge gamusanyusa; Era mu mateeka ge mw'alowooleza emisana n'ekiro.
3Naye alifaanana ng'omuti ogwasimbibwa okumpi n'ensulo ez'amazzi, Ogubala emmere yaagwo mu ntuuko zaayo, Era amalagala gaagwo tegawotoka; Na buli ky'akola, akiweerwako omukisa.
4Ababi si bwe batyo; Naye bali ng'ebisusunku, empewo bye zifuumuula.
5Ababi kyebaliva balema okuyimirira mu musango, Newakubadde abalina ebibi mu kkuŋŋaaniro ly'abatuukirivu.
6Kubanga Mukama amanyi ekkubo ly'abatuukirivu: Naye ekkubo ly'ababi liribula.