Loading Bible Translation
First-time download in progress. This may take a few seconds…
Luganda Holy Bible Wordproject Bible
12 verses
1Kiki ekibagugumusizza ab'amawanga, N'abantu kiki ekibalowoozesezza ekitaliimu?
2Bakabaka ab'ensi beeteeseteese, N'abafuga bateesezza ebigambo wamu, Ku Mukama ne ku Masiya we nga boogera nti
3Ka tumenyemenye enjegere zaabwe, Tusuule wala emigwa gyabwe.
4Atuula mu ggulu aliseka, Mukama alibaduulira.
5Mu biro biri alibagamba mu busungu bwe, Alibateganya mu kiruyi kye ekingi:
6Naye naateeka kabaka wange Ku lusozi lwange olutukuvu Sayuuni.
7Ekiragiro ndikibuulira: Mukama yaŋŋamba nti Ggwe oli mwana wange; Leero nkuzadde.
8Onsabe nze, nange ndikuwa amawanga okubeera obusika bwo, N'ensonda ez'ensi okubeera amatwale go.
9Olibimenya n'omuggo ogw'ekyuma; Olibyasayasa ng'entamu ey'omubumbi.
10Kale kaakano mubeere n'amagezi, mmwe bakabaka: Muyige, mmwe abasala omusango gw'ensi.
11Muweereze Mukama n'okutya, Era musanyuke n'okukankana.
12Munywegere omwana, aleme okusunguwala, nammwe ne mubula mu kkubo, Kubanga obusungu bwe bulibuubuuka mangu. Balina omukisa bonna abamweyuna ye.