Loading Bible Translation
First-time download in progress. This may take a few seconds…
Luganda Holy Bible Wordproject Bible
8 verses
1Mukama, abalabe bange nga beeyongedde! Abagolokoka okunnumba bangi.
2Bangi aboogera ku mmeeme yange Nti Talina kuyambwa mu Katonda. (Seera)
3Naye ggwe, Mukama, oli ngabo enkuuma; Ekitiibwa kyange, era ayimiriza omutwe gwange.
4N'eddoboozi lyange, nkoowoola Mukama, Naye anziramu okuva ku lusozi lwe olutukuvu. (Seera)
5Naagalamira ne nneebaka; Ne nzuukuka; kubanga Mukama ye ankuuma.
6Siritya bukumi bwa bantu, Abaneetooloola okunnumba.
7Golokoka, ai Mukama: ondokole, ai Katonda wange: Kubanga wakuba abalabe bange bonna ku ttama, Wamenya amannyo g'ababi.
8Obulokozi buli eri Mukama: Omukisa gwo gubeere ku bantu bo. (Seera)