Loading Bible Translation
First-time download in progress. This may take a few seconds…
Luganda Holy Bible Wordproject Bible
8 verses
1Onziremu bwe nkukaabira, ai Katonda ow'obutuukirivu bwange; Wansumulula bwe nnali mu nnaku; Onsaasire, ompulire okusaba kwange.
2Mmwe abaana b'abantu, mulituusa wa okukyuusa ekitiibwa kyange mu nsonyi? Mulituusa wa okwagala ebitaliimu, n'okugoberera eby'obulimba? (Seera)
3Naye mutegeere nga Mukama yeeterekedde atya Katonda: Mukama anaawuliranga bwe nnaamukoowoolanga.
4Muyimirire nga mutya, muleme okwonoona: Mulowooze mu mutima gwammwe ku kitanda kyammwe, musiriikirire. (Seera)
5Muweeyo sadaaka ez'obutuukirivu, Era mwesige Mukama.
6Waliwo bangi aboogera nti Ani alitulaga ekintu ekirungi? Mukama, ggwe oyimuse omusana ogw'amaaso go ku ffe.
7Otadde essanyu mu mutima gwange, okusinga ery'omu kyengera ky'emmere n'omwenge gwabwe.
8Mu butatya naagalamiranga ne nneebaka: Kubanga ggwe wekka, Mukama, ontuusa mu mirembe.