Loading Bible Translation
First-time download in progress. This may take a few seconds…
Luganda Holy Bible Wordproject Bible
31 verses
1Tosirika, ai Katonda gwe ntendereza;
2Kubanga akamwa k'ababi n'akamwa k'obulimba bakanjasamidde: Boogedde nange n'olulimi olulimba.
3Era banneetooloola n'ebigambo eby'okukyawa, Ne balwana nange awatali nsonga.
4Olw'okwagala kwange bafuuse balabe bange: Naye nze nsaba.
5Era bansasudde obubi olw'obulungi, N'okukyawa olw'okwagala kwange.
6Omusseeko omuntu omubi: Omulabe ayimirirenga ku mukono gwe ogwa ddyo.
7Bw'asalirwa omusango, afulume nga gumusinze; Era okusaba kwe kufuuke ekibi.
8Ennaku ze zibe ntono; Omulala alye obukulu bwe.
9Abaana be babe nga tebalina kitaabwe, Ne mukazi we nnamwandu.
10Abaana be babe mmomboze, basabirizenga; Banoonyenga emmere mu bifo byabwe ebyazika.
11Omunyazi atege byonna by'alina; B'atamanyi banyageenyage emirimu gye.
12Anaamwongerako ekisa amubule; Anaasaasira abaana be nga tebalina kitaabwe naye abule.
13Ezzadde lye lizikirizibwe; Mu mirembe egirijja amannya gaabwe gasaangulibwe.
14Obutali butuukirivu bwa bajjajjaabe bujjukirwe eri Mukama: So ekibi kya nnyina kireme okusangulibwa.
15Bibeerenga mu maaso ga Mukama ennaku zonna, Azikirize okujjukirwa kwabwe ku nsi.
16Kubanga teyajjukira kusaasira, Naye n'ayigganya omuntu omwavu eyeetaaga, N'oyo eyalina omutima ogumenyese, okubatta.
17Weewaawo, yayagala okukolima, ne kutuuka gy'ali; So teyasanyukira kusaba mukisa, ne gumuba wala.
18Era yayambala okukolima ng'ekyambalo kye, Ne kuyingira mu nda ye ng'amazzi, Era ng'amafuta mu magumba ge.
19Kubenga gy'ali ng'ekyambalo ky'ayambala, Era kubenga ng'olukoba lwe yeesiba ennaku zonna.
20Eyo ye mpeera ey'abalabe bange eva eri Mukama, N'abo aboogera obubi ku mmeeme yange.
21Naye olongoose ebyange, ai Katonda Mukama, olw'erinnya lyo: Kubanga okusaasira kwo kulungi, omponye.
22Kubanga nze ndi mwavu, nneetaga, N'omutima gwange gufumitiddwa munda yange.
23ŋŋendedde ddala ng'ekisiikirize bwe kiggwaawo: Nkuŋŋunta ng'enzige.
24Amaviivi gange ganafuwadde olw'okusiiba; N'omubiri gwange guweebuuse obutagejja.
25Era nfuuse ekivume gye bali: Bwe bandaba, banyeenya omutwe gwabwe.
26Onnyambe, ai Mukama Katonda wange; Nkwegayiridde ondokole ng'okusaasira kwo bwe kuli.
27Balyoke bategeere ng'ogwo gwe mukono gwo: Nga ggwe, Mukama, wakikola.
28Bo bakolime, naye ggwe ompe omukisa: Bwe baligolokoka, balikwatibwa ensonyi, naye omuddu wo alisanyuka.
29Abalabe bange bambale okuswazibwa, Era beebikke ensonyi zaabwe ng'ekikunta.
30Neebazanga nnyo Mukama n'akamwa kange; Weewaawo, naamutenderezanga mu kibiina.
31Kubanga anaayimiriranga ku mukono ogwa ddyo ogw'omwavu, Okumulokola eri abo abasalira omusango emmeeme ye.