Loading Bible Translation
First-time download in progress. This may take a few seconds…
Luganda Holy Bible Wordproject Bible
13 verses
1Omutima gwange gunywedde, ai Katonda; Naayimba, weewaawo, naayimba okutendereza, naayimba n'ekitiibwa kyange.
2Muzuukuke, mmwe amadinda n'ennanga: Nze naakeera nnyo okuzuukuka.
3Naakwebazanga ggwe, ai Mukama, mu mawanga: Era naayimbanga okukutendereza mu bantu.
4Kubanga okusaasira kwo kungi, kusinga eggulu: N'amazima go gatuuka mu ggulu.
5Ogulumizibwe, ai Katonda, okusinga eggulu: N'ekitiibwa kyo okusinga ensi zonna.
6Muganzi wo alyoke awone, Olokole n'omukono gwo ogwa ddyo, otuddemu.
7Katonda yayogera mu butukuvu bwe nti Ndijaguza: Ndisala mu Sekemu, era ndigabaagaba ekiwonvu ekya Sukkosi.
8Gireyaadi wange; Manase wange; Efulayimu naye yakuuma omutwe gwange; Yuda gwe muggo gwange ogw'obwakabaka.
9Mowaabu kye kinaabirwamu kyange; Edomu ndimukasukira engatto Yange Ndyogerera waggulu ku Firisutiya.
10Ani alinnyingiza mu kibuga eky'amaanyi? Ani eyandeeta mu Edomu?
11Totusudde, ai Katonda? So totabaala, ai Katonda, n'eggye lyaffe.
12Otuyambe eri omulabe: Kubanga obuyambi bw'abantu tebuliimu.
13Katonda ye alitukoza eby'obuzira: Kubanga oyo ye alinnyirira ku balabe baffe.