Loading Bible Translation
First-time download in progress. This may take a few seconds…
Luganda Holy Bible Wordproject Bible
43 verses
1Mumwebaze Mukama; kubanga mulungi: Kubanga okusaasira kwe kubeerera emirembe gyonna.
2Abanunule ba Mukama boogera bwe batyo, Be yanunula mu mukono gw'omulabe;
3N'abakuŋŋaanya mu nsi nnyingi, Mu buvanjuba ne mu bugwanjuba, Mu bukiika obwa kkono ne mu bwa ddyo:
4Baakyamira mu ddungu mu kkubo omutali bantu; Ne batalaba kibuga kya kutuulamu.
5Baalumibwa enjala n'ennyonta, Emmeeme yaabwe n'ezirika mu bo.
6Ne balyoka bakaabira Mukama mu nnaku zaabwe, N'abawonya mu kweraliikira kwabwe.
7Era n'abaluŋŋamiza mu kkubo eggolokofu, Batuuke mu kibuga eky'okutuulamu.
8Kale singa abantu batendereza Mukama olw'obulungi bwe, N'olw'eby'amagero bye eri abaana b'abantu!
9Kubanga akkusa emmeeme eyeegomba, N'emmeeme erumwa ennyonta agijjuza ebirungi.
10Abo abaatuula mu kizikiza ne mu kisiikirize eky'okufa, Nga basibibwa n’ennaku n'ekyuma;
11Kubanga baajeemera ebigambo bya Katonda, Ne banyooma okuteesa kw'oyo ali waggulu ennyo:
12Kyeyava azitoya omutima gwabwe n'okutegana; Ne bagwa, so nga tewali anaabayamba.
13Ne balyoka bakaabira Mukama mu nnaku zaabwe, N'abalokola mu kweraliikirira kwabwe.
14N'abaggya mu kizikiza n'ekisiikirize eky'okufa, N'amenyaamenya enjegere zaabwe.
15Kale singa abantu batendereza Mukama olw'obulungi bwe, N'olw'eby'amagero bye eri abaana b'abantu.
16Kubanga yamenya enzigi ez'ebikomo, N'atemera ddala ebisiba eby'ebyuma:
17Abasirusiru olw'okwonoona kwabwe, N'olw'obutali butuukirivu bwabwe, babonyaabonyezebwa.
18Emmeeme yaabwe etamwa emmere yonna yonna; Ne basemberera emiryango egy'okufa.
19Ne balyoka bakaabira Mukama mu nnaku zaabwe, N'abalokola mu kweraliikirira kwabwe.
20Atuma ekigambo kye, n’abawonya, N'abaggya mu kuzikirira kwabwe.
21Kale singa abantu batendereza Mukama olw'obulungi bwe, N'olw'eby'amagero bye eri abaana b'abantu!
22Era bawengayo ssaddaaka ez'okwebaza, Era batenderenga ebikolwa bye n'okuyimba.
23Abaserengetera ku nnyanja mu maato, Abakola emirimu awali amazzi amangi;
24Abo balaba ebikolwa bya Mukama, N'eby'amagero bye mu buziba.
25Kubanga alagira, n'akunsa omuyaga, Oguyimusa amayengo gaagwo.
26Balinnya mu ggulu, ne bakka nate mu ddubi: Emmeeme yaabwe esaanuuka olw'ennaku.
27Beesunda eruuyi n'eruuyi, era batagatta ng'omutamiivu, N'amagezi gonna nga gababuze.
28Ne balyoka bakaabira Mukama mu nnaku zaabwe, N'abaggya mu kweraliikirira kwabwe.
29Alaaza omuyaga, Amayengo gaagwo ne gateeka.
30Ne balyoka basanyuka kubanga bawummula; N'alyoka abaleeta mu mwalo gwe baagala okutuukamu.
31Kale singa abantu batendereza Mukama olw'obulungi bwe, N'olw'eby'amagero bye eri abaana b'abantu
32Era bamugulumizenga mu kkuŋŋaaniro ery'abantu, Era bamutenderezenga awali ekituuti eky'abakadde.
33Afuula emigga eddungu, N'enzizi azifuula ettaka ekkalu;
34Ensi ebala agifuula olukoola olw'omunnyo, Olw'obubi bwabo abatuula omwo.
35Eddungu alifuula ekidiba eky'amazzi, N'ensi enkalu ensulo ez'amazzi.
36Omwo mw'atuuza abalumwa enjala, Balongoosenga ekibuga eky'okutuulamu;
37Era basigenga ennimiro, basimbenga emizabbibu, Beefunirenga ebibala eby'ekyengera.
38Era n'abawa omukisa, n'okweyongera ne beeyongeranga nnyo; N'ataganya nte zaabwe okukendeera.
39Nate, ne baweebuuka ne bajeezebwa Olw'okujoogebwa, n'okweraliikirira, n'okunakuwala.
40Anyoomesa nnyo abalangira, Era abakyamiza mu nsiko omutali kkubo.
41Era naye agulumiza omwavu okuva mu nnaku. N'amukolera ebika ng'ekisibo.
42Abatuukirivu balibiraba, balisanyuka; N'obutali butuukirivu bwonna buliziba akamwa kaabwo.
43Buli alina amagezi anaalowoozanga ebyo, Era banaafumiitirizanga okusaasira kwa Mukama.