Loading Bible Translation
First-time download in progress. This may take a few seconds…
Luganda Holy Bible Wordproject Bible
48 verses
1Mumutendereze Mukama. Kale mumwebaze Mukama; kubanga mulungi: Kubanga okusaasira kwe kubeerera emirembe gyonna.
2Ani ayinza okwatula ebikolwa eby'amaanyi ebya Mukama, Oba okwolesa ettendo lye lyonna?
3Balina omukisa abakwata omusango, N'oyo akola eby'obutuukirivu mu biro byonna.
4Onjijukire, ai Mukama, n’ekisa ky'olina eri abantu bo; Nkwegayiridde, onjijire n'obulokozi bwo:
5Ndabe abalonde bo nga balaba omukisa, Nsanyukire essanyu ery'eggwanga lyo. Neenyumirize wamu n'obusika bwo.
6Twayonoona ffe ne bajjajjaffe, Twakola ebitali bya butuukirivu, twakola obubi.
7Bajjajjaffe tebaategeera bya magero byo mu Misiri; Ne batajjukira kusaasira kwo okungi; Naye ne bajeemera ku nnyanja, ku Nnyanja Emmyufu.
8Era naye n’abalokola olw'erinaya lye, Amanyise obuyinza bwe obungi.
9Era n'anenya Ennyanja Emmyufu, n'ekalira: Awo n'abayisa mu buziba, nga mu ddungu.
10N'abalokola eri omukono gw'oyo eyabakyawa, N'abanunula mu mukono gw'omulabe.
11Amazzi ne gabikka ku balabe baabwe: Ne watasigalawo n'omu.
12Ne balyoka bakkiriza ebigambo bye; Ne bayimba okumutendereza.
13Beerabira mangu emirimu gye; Tebaalindirira kuteesa kwe:
14Naye ne beegombera nnyo mu lukoola, Ne bakemera Katonda mu ddungu.
15N'abawa bye baasaba; Naye n'aleeta obukovvu mu mmeeme yaabwe.
16Era obuggya ne bubakwatira Musa mu lusiisira, Ne Alooni omutukuvu wa Mukama.
17Ensi n'eyasama n'emira Dasani. N'ebikka ku kibiina kya Abiraamu.
18Omuliro ne gwaka mu kibiina kyabwe; Ennimi zaagwo ne zookya ababi.
19Ne bakolera ennyana mu Kolebu, Ne basinza ekifaananyi ekisaanuuse.
20Bwe batyo ne bawaanyisa ekitiibwa kyabwe Okuba ekifaananyi ky'ente erya omuddo.
21Ne beerabira Katonda omulokozi waabwe, Eyakolera ebikulu mu Misiri;
22Eby'amagero mu nsi ya Kaamu, N'eby'entiisa ku Nnyanja Emmyufu.
23Kyeyava ayogera ng'alibazikiriza, Singa Musa omulonde we teyayimirira mu maaso ge mu kituli, Okuzzaayo obusungu bwe, aleme okubazikiriza.
24Weewaawo, baanyooma ensi ey'okwesiima, Tebakkiriza kigambo kye;
25Naye ne beemulugunya mu weema zaabwe, Ne batawulira ddoboozi lya Mukama.
26Kyeyava ayimusa omukono gwe gye bali, Ng'alibasuulira mu ddungu:
27Era ng'aligwisa ezzadde lyabwe mu mawanga, Era ng'alibasaasaanya mu nsi.
28Era ne beegatta ne Baalipyoli, Ne balya ssaddaaka ez'abafu.
29Bwe batyo bwe baamusunguwazanga n'ebikolwa byabwe; Kawumpuli n'agwa mu bo.
30Finekaasi n'alyoka ayimirira n'atuukiriza omusango: Kawumpuli n'aziyizibwa bw'atyo.
31Ekyo ne kimubalirwa okuba obutuukirivu, Okutuusa emirembe gyonna egitaliggwaawo.
32Era ne bamunyiiriza ku mazzi ag'e Meriba, N'okulaba Musa n'alaba obubi ku lwabwe:
33Kubanga baali baagala okujeemera omwoyo gwe, N'ayogera ebitali bya magezi n'emimwa gye.
34Tebaazikiriza mawanga, Nga Mukama bye yabalagira;
35Naye ne beegatta n'amawanga, Ne bayiga emirimu gyabwe:
36Ne baweereza ebifaananyi byabwe; Ebyabafuukira ekyambika.
37Weewaawo, baawangayo batabani baabwe ne bawala baabwe eri bassetaani.
38Ne bayiwa omusaayi ogutaliiko kabi, gwe musaayi gwa batabani baabwe ne bawala baabwe, Be baawangayo eri ebifaananyi bya Kanani; Ensi n'eyonooneka n'omusaayi.
39Bwe batyo ne babaako empitambi olw'emirimu gyabwe, Ne bagenda bayenda mu bikolwa byabwe.
40Obusungu bwa Mukama kyebwava bubuubuuka eri abantu be, N'atamwa obusika bwe.
41N'abawaayo mu mukono gw'amawanga; N'abo abaabakyawa ne babafuga.
42Era abalabe baabwe ne babajooga, Ne bajeemulwa wansi w'omukono gwabwe.
43Emirundi emingi yabawonya; Naye ne baagala okujeema mu kuteesa kwabwe, Ne bajeezebwa mu butali butuukirivu bwabwe.
44Era naye n'atunuulira ennaku zaabwe, Bwe yawulira okukaaba kwabwe:
45N'abajjuukirira endagaano ye, Ne yejjusa ng'okusaasira kwe bwe kuli okungi.
46Era n'ababasaasiza Bonna abaabatwalanga mu busibe.
47Otulokole, ai Mukama Katonda waffe, Otukuŋŋaanye tuve mu mawanga, Okwebazanga erinnya lyo ettukuvu, N'okujagulizanga ettendo lyo.
48Yeebazibwenga Mukama, Katonda wa Isiraeri, Okuva emirembe gyonna okutuuka mu mirembe gyonna. Era bonna boogere nti Amiina. Mumutendereze Mukama.