Loading Bible Translation
First-time download in progress. This may take a few seconds…
Luganda Holy Bible Wordproject Bible
45 verses
1Mumwebazenga Mukama, mukaabirenga erinnya lye; Mumanyisenga ebikolwa bye mu mawanga.
2Mumuyimbirenga, muyimbenga okumutendereza; Mwogerenga ku by'amagero bye byonna.
3Mwenyumirizenga olw'erinnya lye ettukuvu: Omutima gw'abo abanoonya Mukama gusanyukenga.
4Munoonyenga Mukama n'amaanyi ge; Munoonyenga amaaso ge ennaku zonna.
5Mujjukirenga eby'amagero bye bye yakola; Eby'ekitalo bye, n'emisango egy'akamwa ke;
6Mmwe ezzadde lya Ibulayimu omuddu we, Mmwe abaana ba Yakobo, abalonde be.
7Oyo ye Mukama Katonda waffe: Emisango gye gibuna ensi zonna.
8Ajjukira endagaano ye ennaku zonna. Ekigambo kye yalagira emirembe olukumi;
9Endagaano gye yalagaana ne Ibulayimu, N'ekirayiro kye yalayirira Isaaka;
10N'ekyo naakinyweza eri Yakobo okuba etteeka, Eri Isiraeri, okuba endagaano eteriggwaawo:
11Ng'ayogera nti Ggwe ndiwa ensi ya Kanani, Omugabo ogw'obusika bwammwe:
12Bwe baali abantu abatono omuwendo gwabwe: Weewaawo, abatono ennyo, era abo batambuze omwo;
13Ne batambulatambula mu mawanga agatali gamu, Nga bava mu bwakabaka ne baggukira mu bantu abalala.
14Teyaganya muntu kuboonoona; Weewaawo, yanenya bakabaka ku lwabwe;
15Ng'ayogera nti Temukwatanga ku abo be nnafukako amafuta, So temukolanga bubi bannabbi bange.
16N'ayita enjala okugwa ku nsi; N'amenya omuggo gwabwe gwonna, ye mmere yaabwe.
17Yabakulembeza omuntu; Yusufu yatundibwa okuba omuddu:
18Ebigere bye baabirumya enjegere; Yagalamira ng'asibiddwa n'ebyuma:
19Okutuusa ekigambo kye lwe kyatuukirira; Ekigambo kya Mukama kyamukemanga.
20Kabaka yatuma n'amusumulula; Ye yafuga amawanga, n'amuteera ddala.
21N'amufuula omukulu w'ennyumba ye, N'amuteresa ebintu bye byonna:
22Okusiba abalangira be bw'ayagala, N'okuyigiriza amagezi abakadde be.
23Era ne Isiraeri n'ajja mu Misiri; Yakobo n'atuula mu nsi ya Kaamu.
24N'ayongera nnyo abantu be, N'abawa amaanyi okusinga abalabe baabwe.
25N'akyusa omutima gwabwe okukyawa abantu be, Okukuusakuusa abaddu be.
26N'atuma Musa omuddu we, Ne Alooni gwe yalonda.
27Ne bassa mu bo obubonero bwe, N'eby'amagero mu nsi ya Kaamu.
28N'aleeta ekizikiza, ekizikiza ne kikwata; Ne bajeemera ebigambo bye.
29N'afuula amazzi gaabwe omusaayi, N'atta ebyennyanja byabwe.
30Ensi yaabwe n'ejjula ebikere, Mu nju za bakabaka baabwe.
31N'ayogera, ebitole eby'ensowera ne bijja, N'ensekere mu nsalo zaabwe zonna.
32N'abawa omuzira mu kifo ky'enkuba, N'omuliro ogwaka mu nsi yaabwe.
33Era n'akuba n'emizabbibu n'emitiini gyabwe; N'amenya emiti egy’omu nsalo zaabwe.
34N'ayogera, enzige ne zijja, N'obuwuka, era ebyo tebyabalikika omuwendo gwabyo.
35Ne birya buli muddo ogwali mu nsi yaabwe, Ne birya ebibala eby'ettaka lyabwe.
36Era n’akuba n'ababereberye bonna abaali mu nsi yaabwe, Abaali basinga amaanyi mu bazira baabwe bonna.
37N'abaggyamu nga balina effeeza n'ezaabu: So tewaali muntu munafu omu mu bika bye.
38Misiri n’esanyuka bwe baagenda; Kubanga entiisa yaabwe yali ebaguddeko.
39N'ayanjuluza ekire okubabikkangako; N'omuliro gubaakirenga ekiro.
40Ne basaba, n'aleeta obugubi, N'abakkusa emmere ey'omu ggulu.
41N'ayasa ejjinja, amazzi ne gatiiriika; Ne gakulukuta mu bifo ebikalu ng'omugga.
42Kubanga yajjukira ekigambo kye ekitukuvu, Ne Ibulayimu omuddu we.
43N'aggyamu abantu be n'essanyu, N'abatonde be n'okuyimba.
44N'abawa ensi ez'amawanga; Ne batwala ne balya emirimu egy'amawanga:
45Balyoke bakwatenga ebiragiro bye, Beekuumenga amateeka ge. Mumutendereze Mukama.