Loading Bible Translation
First-time download in progress. This may take a few seconds…
Luganda Holy Bible Wordproject Bible
35 verses
1Weebaze Mukama, ggwe emmeeme yange. Ai Mukama Katoada wange, oli mukulu nnyo; Oyambadde ekitiibwa n'obukulu.
2Eyeebikka omusana ng'ekyambalo; Atimba eggulu ng'eggigi:
3Asimba empagi ez'enju ze mu mazzi; Afuula ebire eggaali lye; Atambulira ku biwaawaatiro by'empewo:
4Afuula ababaka be empewo; N'abaweereza be omuliro ogwaka:
5Eyasimba emisingi gy'ensi, Ereme okusagaasagananga emirembe gyonna.
6Wagibikkako ennyanja ng'ekyambalo; Amazzi ne gayimirira waggulu w'ensozi.
7Ggwe bwe wanenya ne gadduka; Eddoboozi ery'okubwatuka kwo bwe lyawulirwa ne ganguwa okugenda;
8Gaalinnya ku nsozi, gaaserengetera mu biwonvu, Ne gatuuka mu kifo kye wagateekerawo.
9Wagalagira ensalo gye gatayinza kusukkako; Galeme okudda nate okubikka ku nsi.
10Aleeta enzizi mu biwonvu; Zikulukuta mu nsozi:
11Zinywesa ensolo zonna ez'omu nsiko; Entulege ziwona ennyonta.
12Ennyonyi ez'omu ggulu kwe zituula ku ezo, Ziyimbira mu matabi.
13Afukirira amazzi ensozi ng'ayima mu nju ze: Ensi n'ekkuta ebibala eby'emirimu gyo.
14Amereza ente essubi, N'omuddo okuweereza abantu; Balyoke baggyenga emmere mu ttaka;
15N'omwenge ogusanyusa omutima gw'abantu, N'amafuta ganyirizenga amaaso ge, N'emmere ewa omuntu amaanyi omutima gwe.
16Emiti gya Mukama gikkuta; Emivule gya Lebanooni gye yasimba;
17Ennyonyi gye zikoleramu ebisu byazo: Kasida, emiberoosi ye nnyumba ye.
18Ensozi empanvu ziba za mbulabuzi; Amayinja kye kiddukiro ky'obumyu.
19Yateekerawo omwezi ebiro: Enjuba emanyi okugwa kwayo.
20Ggwe oleeta ekizikiza, ekiro ne kibaawo; Ensolo zonna ez'omu kibira mwe zifulumira nga zisooba.
21Empologoma ento zivuumira gye zinaalya, Era zinoonya emmere yaazo eri Katonda.
22Enjuba n'evaayo, ne zigenda, Ne zeebaka mu mpuku zaazo.
23Abantu ne bagenda ku mulimu gwabwe N'okutegana kwabwe okutuusa akawungeezi.
24Ai Mukama, emirimu gyo nga gya ngeri nnyingi Wagikola gyonna mu magezi: Ensi ejjudde obugagga bwo.
25Ennyanja eri, ennene engazi, Omuli ebyewalula ebitabalikika, Ebisolo ebitono era n'ebinene.
26Eri amaato gye gayitako; Lukwata mwali, gwe wakola okuzannyira omwo.
27Ebyo byonna bikulindirira ggwe, Obiwe emmere yaabyo mu ntuuko zaayo.
28Gy'obiwa gye bikuŋŋaanya; Oyanjuluza engalo, ne bikkuta ebirungi.
29Okisa amaaso go, ne byeraliikirira; Obiggyamu omukka gwabyo, ne bifa, Ne bidda mu nfuufu yaabyo.
30Otuma omwoyo gwo, ne bitondebwa; Era ofuula obuggya amaaso g'ettaka.
31Ekitiibwa kya Mukama kibeere kya kubeerera; Mukama asanyukire emirimu gye:
32Atunuulira ensi, n'ekankana; Akwata ku nsozi, ne zinyooka.
33Naayimbiranga Mukama nga nkyali mulamu: Naayimbanga okutendereza Katonda wange nga nkyaliwo.
34Okulowooza kwange kumuwoomerenga: Naasanyukiranga Mukama.
35Ababi bazikirire baggweewo ku nsi, Aboonoonye baleme okubeerawo nate. Weebaze Mukama, ggwe emmeeme yange. Mumutendereze Mukama.