Loading Bible Translation
First-time download in progress. This may take a few seconds…
Luganda Holy Bible Wordproject Bible
22 verses
1Weebaze Mukama, ggwe emmeeme yange; Ne byonna ebiri munda yange, mwebaze erinnya lye ettukuvu.
2Weebaze Mukama, ggwe emmeeme yange, So teweerabira birungi bye byonna:
3Asonyiwa ebikolwa byo byonna ebitali bya butuukirivu; Awonya endwadde zo zonna;
4Anunula obulamu bwo buleme okuzikirira; Akussaako engule ey'ekisa n'okusaasira okulungi:
5Akkusa akamwa ko ebirungi; Obuvubuka bwo ne budda obuggya ng'empungu.
6Mukama akola eby'obutuukirivu, Atuukiriza emisango ku lw'abo bonna abajoogebwa.
7Yamanyisa Musa amakubo ge, N'ebikolwa bye eri abaana ba Isiraeri.
8Mukama ajjudde okusaasira n'ekisa, Alwawo okusunguwala, alina okusonyiwa okungi.
9Taanenyenga ennaku zonna; So taabenga na busungu mirembe gyonna.
10Tatukoze ng'ebibi byaffe bwe biri, So tatusasudde ng'ebikolwa byaffe ebitali bya butuukirivu bwe biri.
11Kuba eggulu nga bwe liri waggulu okusinga ensi, N'okusaasira kwe bwe kuli okungi bwe kutyo eri abo abamutya.
12Ebuvanjuba n'ebugwanjuba bwe biri ewala, Bw'atyo bw'atutadde ewala ebyonoono byaffe:
13Nga kitaabwe bw'asaasira abaana be, Ne Mukama bw'asaasira bw'atyo abamutya.
14Kubanga amanyi omubiri gwaffe; Ajjukira nga ffe tuli nfuufu.
15Omuntu, ennaku ze ziri ng'omuddo; Ng'ekimuli eky'omu nsiko, bw'ayera bw'atyo.
16Kubanga empewo zikikuntako, ne kiba nga kigenze; N'ekifo kyakyo tekirikimanya nate.
17Naye okusaasira kwa Mukama kwava mu mirembe gyonna era kulituuka mu mirembe gyonna eri abamutya, N'obutuukirivu bwe eri abaana b'abaana;
18Eri abo abakwata endagaano ye, N'eri abo abajjukira ebiragiro bye okubikola.
19Mukama yanyweza entebe ye mu ggulu; N'obwakabaka bwe bufuga byonna.
20Mumwebaze Mukama, mmwe bamalayika be: Mmwe abazira ab'amaanyi, abatuukiriza ekigambo kye, Nga muwulira eddoboozi ery'ekigambo kye.
21Mumwebaze Mukama, mmwe mwenna eggye lye; Abaweereza be, abakola by'ayagala.
22Mumwebaze Mukama, mmwe mwenna emirimu gye, Mu bifo byonna by'afugiramu: Weebaze Mukama, ggwe emmeeme yange.