Loading Bible Translation
First-time download in progress. This may take a few seconds…
Luganda Holy Bible Wordproject Bible
28 verses
1Wulira okusaba kwange, ai Mukama, Okukaaba kwange kutuuke gy'oli.
2Tonkisa maaso go ku lunaku olw'okunakuwala kwange: Otege okutu kwo we ndi; Ku lunaku lwe nkoowoolerako ompitabe mangu.
3Kubanga ennaku zange ziggwaawo ng'omukka, N'amagumba gange gookebwa ng'omumuli.
4Omutima gwange gwokeddwa, guwotose ng'omuddo; Kubanga neerabira okulya emmere yange.
5Olw'eddoboozi eryokusinda kwange Amagumba gange geegasse n'omubiri gwange.
6Nninga kimbala ow'omu dduungu Nfuuse ng'ekiwuugulu eky'omu nsiko.
7Ntunula, era nfuuse Ng'enkazaluggya etuula ku kitikkiro yokka.
8Abalabe bange bazibya obudde okunvuma; Abandalukidde bandayira.
9Kubanga ndidde evvu ng'omugaati, Era ntabudde kye nnywedde n'amaziga.
10Olw'okunyiiga kwo n'obusungu bwo: Kubanga wannonda n'onsuula.
11Ennaku zange ziri ng'ekisiikirize ekiggwaawo; Era mpotose ng'omuddo.
12Naye ggwe, ai Mukama, onoobeereranga ennaku zonna: N'ekijjukizo kyo okutuusa emirembe gyonna.
13Oligolokoka, olisaasira Sayuuni: Kubanga obudde butuuse okumusaasira, Weewaawo, obudde obwalagirwa butuuse.
14Kubanga abaddu bo basanyukira amayinja ge, Era basaasira enfuufu ye.
15Bwe gatyo amawanga gonna galitya erinnya lya Mukama, Ne bakabaka bonna ab'ensi balitya ekitiibwa kyo:
16Kubanga Mukama azimbidde ddala Sayuuni, Alabikidde mu kitiibwa kye;
17Alowoozezza okusaba kw'abo abafiiriddwa, So tanyoomye kusaba kwabwe.
18Ekyo kiriwandiikirwa emirembe egirijja: N'eggwanga eriritondebwa liritendereza Mukama.
19Kubanga atunuulidde wansi ng'ayima ku watukuvu we awagulumivu; Mukama yalaba ensi ng'ayima mu ggulu;
20Okuwulira okusinda kw'omusibe; Okusumulula abo abateekerwawo okufa;
21Abantu balyoke batenderenga erinnya lya Mukama mu Sayuuni N'ettendo lye mu Yerusaalemi;
22Amawanga bwe galikuŋŋaana awamu, N'amatwale, okuweereza Mukama.
23Yakendeeza ku maanyi gange mu kkubo; Yasala ku nnaku zange.
24Ne njogera nti Ai Katonda wange, tontwalira ddala ng'ennaku zange tezinnaggwaawo: Emyaka gyo gibeerera emirembe gyonna.
25Edda n'edda watandika ensi; N'eggulu gwe mulimu gw'emikono gyo.
26Ebyo biriggwaawo, naye ggwe onoobeereranga: Weewaawo, ebyo byonna birikaddiwa ng'ekyambalo; Olibiwaanyisa ng'ekyambalo, n'ebyo biriwaanyisibwa:
27Naye ggwe oba bumu, N'emyaka gyo tegirikoma.
28Abaana b'abaddu bo banaabeerangawo. N'ezzadde lyabwe linaanywezebwanga mu maaso go.