Loading Bible Translation
First-time download in progress. This may take a few seconds…
Luganda Holy Bible Wordproject Bible
8 verses
1Naayimbanga ku kusaasira ne ku musango: Ggwe, ai Mukama, gwe nnaayimbiranga okutendereza.
2Naatambuliranga n'amagezi mu kkubo ettuukirivu: Woowe, olijja gye ndi ddi? Naatambuliranga mu nnyumba yange n'omutima ogutuukiridde.
3Siiteekenga kintu kyonna ekitasaana mu maaso gange: Nkyawa omulimu gw'abo abakyama; Tegwegattenga nange:
4Omutima ogutawulira gulindekera ddala: Sirimanya kintu kyonna kibi.
5Awaayiririza munne mu kyama, oyo n'azikirizanga: Alina amaaso ageegulumiza n'omutima ogw'amalala siimugumiikirizenga.
6Amaaso gange ganaatunuuliranga abeesigwa ab'omu nsi, batuulenga wamu nange: Atambulira mu kkubo ettuukirivu ye anampeerezanga.
7Akola eby'obulimba talituula mu nnyumba yange: Ayogera ebitali bya mazima talinywera mu maaso gange.
8Buli nkya naazikirizanga ababi bonna ab'omu nsi; Mmalewo bonna abakola ebitali bya butuukirivu baggweewo mu kibuga kya Mukama.