Loading Bible Translation
First-time download in progress. This may take a few seconds…
Luganda Holy Bible Wordproject Bible
5 verses
1Muleetere Mukama eddoboozi ery'essanyu, mmwe ensi zonna.
2Mumuweereze Mukama n'essanyu: Mujje mu maaso ge n'okuyimba.
3Mumanye nga Mukama ye Katonda: Oyo ye yatutonda, naffe tuli babe; Tuli bantu be, era endiga ez'omu ddundiro lye.
4Muyingire mu miryango gye n'okwebaza, Ne mu mpya ze n'okutendereza. Mumwebaze, mukuze erinnya lye.
5Kubanga Mukama mulungi; okusaasira kwe kwa lubeerera; N'obwesigwa bwe bwa mirembe gyonna.