Loading Bible Translation
First-time download in progress. This may take a few seconds…
Luganda Holy Bible Wordproject Bible
9 verses
1Mukama afuga; amawanga gakankane; Atuula wakati wa bakerubi; ensi esagaasagane.
2Mukama mukulu mu Sayuuni; Era ali waggulu okusinga amawanga gonna.
3Batendereze erinnya lyo ekkulu era ery'entiisa. Ye mutukuvu.
4Era amaanyi ga kabaka gaagala omusango ogw'ensonga; Ggwe onyweza obutuukirivu, Otuukiriza omusango n'obutuukirivu mu Yakobo.
5Mumugulumizenga Mukama Katonda waffe, Era musinzizenga ku ntebe y'ebigere bye: Ye mutukuvu.
6Musa ne Alooni mu bakabona be, Ne Samwiri mu abo abakoowoola erinnya lye; Baakaabira Mukama, n'abayitaba.
7Yayogerera nabo mu mpagi ey'ekire: Baakwata bye yategeeza; n'ekiragiro kye yabawa.
8Wabaddamu, ai Mukama Katonda waffe: Wali Katonda abasonyiwa, Newakubadde nga wabawalana eggwanga olw'ebikolwa byabwe.
9Mumugulumizenga Mukama Katonda waffe, Musinzizenga ku lusozi lwe olutukuvu; Kubanga Mukama Katonda waffe mutukuvu.