Loading Bible Translation
First-time download in progress. This may take a few seconds…
Luganda Holy Bible Wordproject Bible
18 verses
1Si ffe, ai Mukama, si ffe, Wabula erinnya lyo lye ligwana okuweebwa ekitiibwa Olw'okusaasira kwo, n'olw'amazima go.
2Kiki ekinaaba kiboogeza ab'amawanga Nti Katonda waabwe ali ludda wa kaakano?
3Naye Katonda waffe ali mu ggulu: Akoze bye yayagala byonna.
4Ebifaananyi byabwe ye ffeeza, ye zaabu, Omulimu ogw'emikono gy'abantu.
5Birina obumwa, naye tebyogera; Birina amaaso, naye tebiraba;
6Birina amatu, naye tebiwulira; Birina ennyindo, naye tebiwunyiriza;
7Birina engalo, naye tebizikwasa kintu; Birina ebigere, naye tebitambula; So tebyogeza bulago bwabyo.
8Ababikola balibifaanana; Weewaawo, buli abyesiga.
9Ggwe Isiraeri, mwesigenga Mukama: Ye mubeezi waabwe, ye ngabo yaabwe.
10Ggwe ennyumba ya Alooni, mwesigenga Mukama: Ye mubeezi waabwe, ye ngabo yaabwe.
11Mmwe abatya Mukama, mwesigenga Mukama: Ye mubeezi waabwe, ye ngabo yaabwe.
12Mukama atujjukidde; alituwa omukisa; Aliwa omukisa ennyumba ya Isiraeri; Aliwa omukisa ennyumba ya Alooni.
13Aliwa omukisa abo abatya Mukama, Abato era n'abakulu.
14Mukama ayongerenga bulijjo okubaaza Mmwe n'abaana bammwe.
15Mmwe muweereddwa Mukama omukisa, Eyakola eggulu n'ensi.
16Eggulu lye ggulu lya Mukama; Naye ensi yagiwa abaana b'abantu.
17Abafu tebatendereza Mukama, Newakubadde abo bonna abakka mu kusirika;
18Naye ffe tuneebazanga Mukama Okuva leero okutuusa emirembe gyonna. Mumutendereze Mukama.