Loading Bible Translation
First-time download in progress. This may take a few seconds…
Luganda Holy Bible Wordproject Bible
19 verses
1Mmwagala Mukama, kubanga awulidde Eddoboozi lyange n'okwegayirira kwange.
2Kubanga antegedde okutu, Kyennaavanga mmukoowoola nga nkyali mulamu.
3Emigwa egy'okufa gyansiba. N'okulumwa kw'emagombe kwankwata: Ne ndaba ennaku n'okutegana.
4Ne ndyoka nkoowoola erinnya lya Mukama; Nti Ai Mukama, nkwegayiridde, omponye emmeeme yange.
5Mukama wa kisa, era mutuukirivu; Weewaawo, Katonda waffe alina okusaasira.
6Mukama akuuma abo abatalina nkwe: Najeezebwa, n'andokola.
7Komawo mu kiwummulo kyo, ggwe emmeeme yange; Kubanga Mukama akukoledde eby'ekisa ekingi.
8Kubanga omponyezza emmeeme yange okufa, Amaaso gange obutakaaba maziga, N'ebigere byange obutagwa.
9Naatambuliranga mu maaso ga Mukama Mu nsi y'abalamu.
10Nzikiriza, kubanga ndyogera: Nabonyaabonyezebwa nnyo:
11Ne njogera nga nnyanguwa Nti Abantu bonna bulimba.
12Kiki kye ndisasula Mukama Olw'ebirungi bye byonna eri nze?
13Nditoola akakompe ak'obulokozi, Era ndikaabira erinnya lya Mukama.
14Ndisasula obweyamo bwange eri Mukama, Weewaawo, mu maaso g'abantu be bonna.
15Okufa kw'abatukuvu be Kwa muwendo mungi mu maaso ga Mukama.
16Ai Mukama, mazima nze ndi muddu wo: Nze ndi muddu wo, era omwana w'omuzaana wo; Osumuludde ebyansiba.
17Ndikuwa ssaddaaka ey'okwebaza, Era ndikaabira erinnya lya Mukama.
18Ndisasula obweyamo bwange eri Mukama, Weewaawo, mu maaso g'abantu be bonna;
19Mu mpya z'ennyumba ya Mukama, Wakati mu ggwe, ggwe Yerusaalemi. Mumutendereze Mukama.