Loading Bible Translation
First-time download in progress. This may take a few seconds…
Luganda Holy Bible Wordproject Bible
29 verses
1Mumwebaze Mukama; kubanga mulungi: Kubanga okusaasira kwe kubeerera emirembe gyonna.
2Isiraeri ayogere kaakano Nti okusaasira kwe kubeerera emirembe gyonna.
3Ennyumba ya Alooni eyogere kaakano Nti okusaasira kwe kubeerera emirembe gyonna.
4Abo abamutya Mukama boogere kaakano Nti okusaasira kwe kubeerera emirembe gyonna.
5Bwe nnali mu nnaku ne nkaabira Mukama: Mukama n'anjitaba, n'anteeka mu kifo ekigazi.
6Mukama ali ku luuyi lwange; siritya: Abantu bayinza kunkola ki?
7Mukama ali ku luuyi lwange mu abo abannyamba: Kyendiva ndaba bye njagala nga bituuse ku abo abankyaye.
8Kirungi okwesiganga Mukama Okusinga okwesiga abantu.
9Kirungi okwesiganga Mukama Okusinga okwesiga abalangira.
10Amawanga gonna ganneetoolodde: Mu linnya lya Mukama ndigazikiriza.
11Ganneetoolodde; weewaawo, ganneetoolodde; Mu linnya lya Mukama ndigazikiriza.
12Banneetoolodde ng'enjuki; bazikidde ng'omuliro ogw'omu maggwa: Mu linnya lya Mukama ndibazikiriza.
13Bansoya nnyo okungwisa: Naye Mukama n'annyamba.
14Mukama ge maanyi gange, lwe luyimba lwange; Era afuuse obulokozi bwange.
15Eddoboozi ery'essanyu era ery'obulokozi liri mu weema ez'abatuukirivu; Omukono ogwa dddyo ogwa Mukama gukola eby'obuzira.
16Omukono ogwa ddyo ogwa Mukama gugulumizibwa: Omukono ogwa ddyo ogwa Mukama gukola eby'obuzira.
17Sirifa, naye naabeeranga mulamu, Era naabuuliranga omirimu gya Mukama.
18Mukama ambonerezza nnyo: Naye tangabulanga eri okufa.
19Munzigulirewo enzigi ez'obutuukirivu: Naaziyingiramu, ne nneebaza Mukama.
20Olwo lwe luggi lwa Mukama; Abatuukirivu be baliyingiramu.
21Naakwebazanga, kubanga onzizeemu, Era ofuuse obulokozi bwange.
22Ejjinja abazimbi lye baagaana Lifuuse ekkulu ery'oku nsonda.
23Ekyo Mukama ye yakikola; Kya kitalo mu maaso gaffe.
24Luno lwe lunaku Mukama lwe yakola; Tunaasanyuka, tunaajaguliza okwo.
25Olokole kaakano, tukwegayiridde, ai Mukama: Ai Mukama, tukwegayiridde, oweereze omukisa kaakano.
26Alina omukisa oyo ajja mu linnya lya Mukama: Tubasabidde omukisa nga tuyima mu nnyumba ya Mukama.
27Mukama ye Katonda, era atuwadde omusana Musibe ssaddaaka n'emigwa, musibe ku mayembe g'ekyoto.
28Ggwe oli Katonda wange, nange naakwebazanga: Ggwe oli Katonda wange, naakugulumizanga.
29Kale mumwebaze Mukama; kubanga mulungi: Kubanga okusaasira kwe kubeerera emirembe gyonna.