Loading Bible Translation
First-time download in progress. This may take a few seconds…
Luganda Holy Bible Wordproject Bible
176 verses
1Balina omukisa abo abatuukirira mu kkubo, Abatambulira mu mateeka ga Mukama.
2Balina omukisa abo abeekuuma bye yategeeza, Abamunoonya n'omutima gwonna.
3Weewaawo, abo tebakola ebitali bya butuukirivu; Batambulira mu makubo ge.
4Watukuutira ebiragiro byo, Tubikwatenga nnyo.
5Singa amakubo gange ganywedde Okukwata amateeka go!
6Bwe ntyo bwe siikwatibwenga nsonyi, Bwe nnaalowoozanga bye walagira byonna.
7Naakwebazanga n'omutima ogutalina bukuusa, Bwe ndiba nga njize emisango gyo egy'ensonga.
8Naakwatanga amateeka go: Nkwegayiridde, tondekera ddala. BEESI
9Omuvubuka anaalongoosanga atya ekkubo lye? Nga yeegendereza ng'ekigambo kyo bwe kiri.
10N'omutima gwange gwonna nkunoonyezza: Nkwegayiridde, nneme okukyama okuleka bye walagira.
11Nterese ekigambo kyo mu mutima gwange, Nneme okwonoona mu maaso go.
12Weebazibwa, ai Mukama: Onjigirizenga amateeka go.
13N'emimwa gyange mbuulidde Emisango gyonna egy'akamwako.
14Nsanyukidde ekkubo ly'ebyo bye wategeeza, Nga asanyukira obugagga bwonna.
15Naafumiitirizanga ebiragiro byo. Era naalowoozanga amakubo go.
16Naasanyukiranga amateeka go: Seerabirenga kigambo kyo. GIMERI
17Onkolere omuddu wo eby'ekisa ekingi, mbeerenga omulamu; Bwe ntyo bwe nnaakwatanga ekigambo kyo.
18Onzibule amaaso gange, ndabe Eby'ekitalo ebiva mu mateeka go.
19Nze ndi mutambuze mu nsi: Tonkisa bye walagira.
20Emmeeme yange ekutuse olw'okuyaayaana Kw'eyaayaanira emisango gyo ebiro byonna.
21Onenyezza ab'amalala abakolimirwa, Abakyama okuleka bye walagira.
22Onzigyeko okuvumibwa n'okunyoomebwa; Kubanga neekuumye bye wategeeza.
23Era n'abalangira batuula ne banjogerako obubi: Naye omuddu wo nafumiitiriza amateeka go.
24Era bye wategeeza bye nsanyukira, Era ebyo be bantu be nteesa nabo. DALESI
25Emmeeme yange yeegasse n'enfuufu: Onzuukize ng'ekigambo kyo bwe kyo bwe kiri.
26Nayatula amakubo gange, naawe n'onziramu: Onjigirize amateeka go.
27Ontegeeze ntegeere ekkubo ery'ebiragiro byo: Ne ndyoka nfumutiriza emirimu gyo egy'ekitalo.
28Emmeeme yange esaanuuse olw'okunyiikaala: Ompe amaanyi ng'ekigambo kyo bwe kiri.
29Onziyeko ekkubo ery'obulimba: Era ompe amateeka go n'ekisa.
30Neerobozezza ekkubo ery'obwesigwa: Emisango ngitadde mu maaso gange.
31Neegatta n'ebyo bye wategeeza: Ai Mukama, tonkwasa nsonyi. HE
32Naddukiranga mu kkubo ly'ebyo bye walagira, Bw'oligaziya omutima gwange.
33Onjigirize, ai Mukama, ekkubo ery'amateeka go; Nange naalyekuumanga okutuusa enkomerero.
34Ompe amagezi, nange neekuumanga amateeka go; Weewaawo, naagakwatanga n'omutima gwange gwonna.
35Ompise mu kkubo ly'ebyo bye walagira: Kubanga mu eryo mwe nsanyukira.
36Okyuse omutima gwange eri ebyo bye wategeeza, So si eri kwegomba.
37Owunjule amaaso gange galemenga okulaba ebitaliimu, Era onzuukize mu makubo go.
38Onyweze ekigambo kyo eri omuddu wo, Ky'eky'okutyanga ggwe.
39Ompunjulire ekivume kye ntya; Kubanga emisango gyo mirungi.
40Laba, neegombanga ebiragiro byo: Onzuukirize mu butuukirivu bwo. VAWU
41Era n'okusaasira kwo kutuuke gye ndi, ai Mukama, Bwe bulokozi bwo, ng'ekigambo kyo bwe kiri.
42Bwe ntyo bwe ndiba n'eky'okuddamu eri oyo anvuma; Kubanga neesiga ekigambo kyo.
43So toggiramu ddala kigambo kya mazima mu kamwa kange; Kubanga naasuubiranga emisango gyo.
44Bwe ntyo bwe nnaakwatanga amateeka go ennaku zonna Emirembe n'emirembe.
45Era naatambulanga nga neeyabya; Kubanga nnoonyezza ebiragiro byo.
46Era naayogeranga ku ebyo bye wategeeza mu maaso ga bakabaka, Ne sikwatibwa nsonyi.
47Era naasanyukiranga ebyo bye walagira, Bye nnaayagalanga:
48Era naayimusanga engalo zange eri ebyo bye walagira, bye nnaayagalanga: Era naafumiitirizanga mateeka go. ZAYINI
49Ojjukire ekigambo eri omuddu wo, Kubanga wansuubiza.
50Eryo lye ssanyu lyange bwe mbonyaabonyezebwa: Kubanga ekigambo kyo kinzuukizizza.
51Ab'amalala bansekeredde nnyo: Naye ne sseekooloobyanga okuva mu mateeka go.
52Njijukidde emisango gyo egy'edda, ai Mukama, Ne nneesanyusa.
53Obusungu obubuubuuka bunkutte, Olw'ababi abaleka amateeka go.
54Amateeka go ge nnyimbirako Mu nnyumba ey'okutambula kwange.
55Najjukiranga erinnya lyo ekiro, ai Mukama, Era nakwatanga amateeka go.
56Ekigambo kino kyange, Okukuumanga ebiragiro byo. KEESI
57Mukama gwe mugabo gwange: Nayogera nga naakwatanga ebigambo byo.
58Nasaba ekisa kyo n'omutima gwange gwonna: Onsaasire ng'ekigambo kyo bwe kiri.
59Nalowooza amakubo gange, Ne nkyusa ebigere byange eri ebyo bye wategeeza.
60Nayanguwa ne sirwawo, Okukwata ebyo bye walagira.
61Emigwa egy'ababi gimbisse; Naye seerabidde mateeka go.
62Mu ttumbi naagolokokanga okukwebaza Olw'emisango gyo egy'ensonga.
63Nze ndi munne w'abo bonna abakutya, N'abo abakwata ebiragiro byo.
64Ai Mukama, ensi ejjudde okusaasira kwo: Onjigirize amateeka go. TEESI
65Okoledde ebirungi omuddu wo, Ai Mukama, ng'ekigambo kyo bwe kiri.
66Onjigirizenga okusala emisango egy'ensonga n'okutegeera; Kubanga nakkirizanga ebyo bye walagira.
67Nga sinnabonyaabonyezebwa, nakyama; Naye kaakano nkwata ekigambo kyo.
68Oli mulungi, era okola ebirungi; Onjigirizenga amateeka go.
69Ab'amalala banjiiyirizzaako eky'obulimba: N'omutima gwange gwonna neekuumanga ebiragiro byo.
70Omutima gwabwe gugezze ng'amasavu; Naye nze nsanyukira amateeka go.
71Kwangasa okubonyaabonyezebwa; Ndyoke njige amateeka go.
72Amateeka g'akamwa ko gampoomera nze Okusinga ebitundu eby'ezaabu n'effeeza enkumi n'enkumi. YODI
73Engalo zo ze zankola, ze zammumba: Ompe amagezi, njigenga ebyo bye walagira.
74Abakutya banandabanga ne basanyuka; Kubanga naasuubiranga ekigambo kyo.
75Mmanyi, ai Mukama, ng'emisango gyo gya nsonga, Era nga wambonyaabonya olw'obwesigwa.
76Nkwegayiridde, ekisa kyo ekirungi kinsanyuse, Ng'ekigambo kyo bwe kiri eri omuddu wo.
77Okusaasira kwo okulungi kujje gye ndi, mbeerenga omulamu: Kubanga amateeka go ge gansanyusa.
78Ab'amalala bakwatibwe ensonyi; kubanga bammegga awatali nsonga. Naye naafumiitirizanga ebiragiro byo.
79Abakutya bankyukire, Era balitegeera bye wategeeza.
80Omutima gwange gutuukirire mu mateeka go; Nnemenga okukwatibwa ensonyi. KAFU
81Emmeeme yange ezirise olw'obulokozi bwo: Naye nsuubira ekigambo kyo.
82Amaaso gange gakulukuse olw'ekigambo kyo, Nga njogera nti Olinsanyusa ddi?
83Kubanga nfuuse ng'eddiba eriwanikibwa mu mukka; Naye seerabira mateeka go.
84Ennaku ez'omuddu wo ziri mmeka? Olituukiriza ddi omusango ku abo abanjigganya?
85Ab'amalala bansimidde obunnya Abatagoberera mateeka go.
86Bye walagira byonna bya bwesigwa: Banjigganya awatali nsonga: ggwe onnyambe.
87Baabulako katono banzikirize ku nsi; Naye ne sireka biragiro byo.
88Onzuukize ng'ekisa kyo ekirungi bwe kiri; Bwe ntyo bwe nnaakwatanga akamwa ko bye kategeeza. LAMEDI
89Emirembe gyonna, ai Mukama, Ekigambo kyo kinyweredde mu ggulu.
90Obwesigwa bwo bubeerera emirembe gyonna: Wanyweza ensi, n'ebeererawo.
91Bikyaliwo leero nga bwe walagira; Kubanga ebintu byonna baddu bo.
92Singa amateeka go si ge gansanyusa, Nandizikiridde bwe nnabonyaabonyezebwa.
93Seerabirenga biragiro byo ennaku zonna; Kubanga wanzuukiza n'ebyo.
94Nze ndi wuwo, ondokole; Kubanga naanoonyanga ebiragiro byo.
95Ababi bannindiridde okunzikiriza; Naye nze naalowoozanga bye wategeeza.
96Ndabye ebintu byonna ebyatuukirira gye bikoma; Naye ekiragiro kyo kigazi nnyo. MEMU
97Amateeka go nga ngaagala! Ago ge nfumiitiriza okuzibya obudde.
98Bye walagira bingeziwaza okusinga abalabe bange; Kubanga bali wamu nange ennaku zonna.
99Nnina okutegeera okusinga abayigiriza bange bonna; Kubanga bye wategeeza bye ndowooza.
100Ntegeera okukira abakadde, Kubanga neekuumanga ebiragiro byo.
101Naaziyizanga ebigere byange obutatambula mu kkubo ebbi lyonna, Ndyoke nkwatenga ekigambo kyo.
102Seekooloobyanga kuleka misango gyo; Kubanga ggwe wanjigirizanga.
103Ebigambo byo nga bimpoomera mu kibuno kyange! Bisinga omubisi gw'enjuki mu kamwa kange!
104Ebiragiro byo bye binfunya okutegeera: Kyenvudde nkyawa buli kkubo ery'obulimba. NUUNI
105Ekigambo kyo ye ttabaaza eri ebigere byange, N'omusana eri ekkubo lyange.
106Nalayira, era nkikakasizza kino, Nga naakwatanga emisango gyo egy'ensonga.
107Mbonyaabonyezebwa nnyo; Onzuukize, ai Mukama, ng'ekigambo kyo bwe kiri.
108Okkirize, nkwegayiridde, ebyo akamwa kange bye kaakuwa, ai Mukama, nga tekaawalirizibwa, Era onjigirizenga emisango gyo.
109Emmeeme yange eri mu mukono gwange ennaku zonna; Naye seerabira mateeka go.
110Ababi bantegedde omutego; Naye sikyamanga kuleka biragiro byo.
111Bye wategeeza mbitutte okuba obusika obutaliggavaawo; Kubanga ebyo bye binsanyusa omutima gwange.
112Mpese omutima gwange okutuukiriza amateeka go, Emirembe gyonna, okutuusa enkomerero. SAMEKI
113Nkyaye abo abalina emyoyo egy'obulimba; Naye amateeka go ge njagala.
114Ggwe oli kifo kyange kye nneekwekamu, n'engabo yange: Nsuubira ekigambo kyo.
115Mugende mumbeere wala, mmwe abakozi b'obubi; Ndyoke neekuumenga Katonda wange bye yalagira.
116Ompanirire ng'ekigambo kyo bwe kiri, mbeerenga omulamu; Nneme okukwatibwanga ensonyi olw'essuubi lyange.
117Ggwe ompanirire, nange naabeerangawo mirembe, Era neegenderezanga amateeka go ennaku zonna.
118Onyoomye abo bonna abakyama okuleka amateeka go; Kubanga obukuusakuusa bwabwe bulimba.
119Omalawo ababi bonna ab'ensi ng'amasengere: Kyenvudde njagala ebyo bye wategeeza.
120Omubiri gwange gukankana olw'okukutya; Era ntya emisango gyo. AYINI
121Nkoze eby'omusango n'eby'obutuukirivu: Tondekera abo abanjooga.
122Weeyimirire omuddu wo olw'obulungi: Ab'amalala baleme okunjooganga.
123Amaaso gange ganzibye olw'obulokozi bwo, N'olw'ekigambo kyo ekituukirivu.
124Okole omuddu wo ng'okusaasira kwo bwe kuli, Era onjigirizenga amateeka go.
125Nze ndi muddu wo, ompe okutegeera; Ndyoke mmanye ebyo bye wategeeza.
126Obudde butuuse Mukama okukola emirimu; Kubanga badibiza amateeka go.
127Kyenvudde njagala ebyo bye walagira Okusinga ezaabu, weewaawo, okusinga ezaabu ennungi.
128Kyenvudde ndowooza ebiragiro byo byonna eby'ebigambo byonna nga bya nsonga; Era nkyaye buli kkubo ery'obulimba. PE
129Bye wategeeza bya kitalo: Emmeeme yange kyeva ebyekuuma.
130Ebigambo byo nga bigguliddwawo bireeta omusana; Biwa okutegeera abatalina magezi.
131Nayasama nnyo akamwa kange ne mpeevuuma; Kubanga nayaayaanira ebyo bye walagira.
132Onkyukire, onsaasire, Nga bw'oyisa okusaasira abo abaagala erinnya lyo.
133Oluŋŋamizenga ebigere byange mu kigambo kyo; So obutali butuukirivu bwonna buleme okunfuganga.
134Onnunule nneme okujoogebwanga abantu: Bwe ntyo bwe nnaakwataaga ebiragiro byo.
135Oyakize amaaso go omuddu wo; Era onjigirizenga amateeka go.
136Amaaso gange gakulukuta emigga gy’amazzi, Kubanga tebakwata mateeka go. TIZADDE
137Oli mutuukirivu, ai Mukama, N'emisango gyo gya nsonga.
138Walagira bye wategeeza mu butuukirivu Ne mu bwesigwa ddala ddala.
139Obuggya bwange bunzikirizza, Kubanga abalabe bange beerabidde ebigambo byo.
140Ekigambo kyo kirongoofu nnyo; Omuddu wo kyava akyagala.
141Nze ndi muto, nnyoomebwa: Naye seerabira biragiro byo.
142Obutuukirivu bwo bwe butuukirivu obw'emirembe gyonna, N'amateeka go ge mazima.
143Ennaku n'okulumwa bindabye: Naye bye walagira bye binsanyusa.
144Bye wategeeza bya butuukirivu emirembe gyonna: Ompe okutegeera, nange naabeeranga mulamu. KOOFU
145Nkoowodde n'omutima gwange gwonna; ompitabe, ai Mukama: Naakuumanga amateeka go.
146Nkukoowodde; ondokole, Nange naakwatanga ebyo bye wategeeza.
147Nakeera emmambya nga tennasala, ne nkoowoola: Nasuubira ebigambo byo.
148Amaaso gange gaasooka ebisisimuka by'ekiro, Nfumiitirize ekigambo kyo.
149Owulire eddoboozi lyange ng'ekisa kyo bwe kiri: Onzuukize, ai Mukama, ng'emisango gyo bwe giri:
150Basembera abagoberera obubi; Bali wala amateeka go.
151Ggwe oli kumpi, ai Mukama; Ne byonna bye walagira ge mazima.
152Edda n'edda namanyanga olw'ebyo bye wategeeza, Nga wabinyweza emirembe gyonna. REESI
153Olowoozenga okubonaabona kwange, omponye; Kubanga seerabira mateeka go.
154Ompolereze ensonga yange, onnunule: Onzuukize ng'ekigambo kyo bwe kiri.
155Obulokozi buba wala ababi; Kubanga tebanoonya mateeka go.
156Okusaasira kwo okulungi kungi, ai Mukama: Onzuukize ng'emisango gyo bwe giri.
157Abanjigganya n'abankyawa bangi: Naye seekooloobyanga kuleka bye wategeeza.
158Nalaba abo abakola eby'enkwe, ne nnakuwala; Kubanga tebakwata kigambo kyo.
159Olowooze bwe njagala ebiragiro byo: Onzuukize, ai Mukama, ng'ekisa kyo bwe kiri.
160Ekigambo kyo kyonna kyonna mazima; N'emisango gyo egy'ensonga gyonna gyonna gibeerera emirembe gyonna. SINI
161Abalangira banjigganyizza awatali nsonga; Naye omutima gwange gutya nnyo ebigambo byo.
162Nsanyukira ekigambo kyo, Ng'alaba omunyago omungi.
163Nkyaye obulimba, mbutamwa; Naye amateeka go ge njagala.
164Emirundi musanvu buli lunaku nkutendereza; Olw'emisango gyo egy'ensonga.
165Abaagala amateeka go balina emirembe mingi; So tebaliiko kibeesittaza.
166Nsuubidde obulokozi bwo, ai Mukama, Era nkoze bye walagira.
167Emmeeme yange yakwatanga bye wategeeza; Era mbyagala kitalo.
168Naakwatanga ebiragiro byo n'ebyo bye wategeeza; Kubanga amakubo gange gonna gali mu maaso go. TAWU
169Okukaaba kwange kusemberenga mu maaso go, ai Mukama: Ompe okutegeeranga ng'ekigambo kyo bwe kiri.
170Okwegayirira kwange kujjenga mu maaso go: Omponye ng'ekigambo kyo bwe kiri.
171Emimwa gyange gyogere ettendo; Kubanga onjigiriza amateeka go.
172Olulimi lwange luyimbe ku kigambo kyo; Kubanga bye walagira byonna bwe butuukirivu.
173Omukono gwo gube nga gweteeseteese okunnyamba; Kubanga nneerobozza ebiragiro byo.
174Njaayaanidde obulokozi bwo, ai Mukama; Era amateeka go ge gansanyusa.
175Emmeeme yange ebeerenga ennamu, era eneekutenderezanga; N'emisango gyo ginnyambenga.
176Nakyama ng'endiga ebuze; noonya omuddu wo; Kubanga seerabira bye walagira.