Loading Bible Translation
First-time download in progress. This may take a few seconds…
Luganda Holy Bible Wordproject Bible
7 verses
1Mu kunakuwala kwange nakoowoola Mukama, N'ampitaba.
2Omponye emmeeme yange, ai Mukama, eri emimwa egy'obulimba, N'eri olulimi olw'obukuusakuusa.
3Oliweebwa ki, olyongerwako ki nate, Ggwe olulimi olw'obukuusakuusa?
4Obusaale obw'obwogi obw'abazira, Era n'amanda ag'entaseesa.
5Zinsanze, kubanga ntambulira mu Meseki Kubanga ntuula mu weema za Kedali!
6Emmeeme yange yaakamaze ennaku nnyingi okutuula Awamu n'oyo akyawa emirembe.
7Nze njagala emirembe: Naye bwe njogera, baagala okulwana.