Loading Bible Translation
First-time download in progress. This may take a few seconds…
Luganda Holy Bible Wordproject Bible
8 verses
1Naayimusa amaaso gange eri ensozi: Okubeerwa kwange kuliva wa?
2Okubeerwa kwange kuva eri Mukama, Eyakola eggulu n'ensi.
3Taliganya kigere kyo okusagaasagana: Akukuuma taabongootenga.
4Laba, akuuma Isiraeri Taabongootenga so teyeebakenga.
5Mukama ye mukuumi wo: Mukama kye kisiikirize kyo ku mukono gwo ogwa ddyo.
6Enjuba terikwokya emisana, Newakubadde omwezi ekiro.
7Mukama anaakukuumanga eri obubi bwonna; Ono ye anaakuumanga emmeeme yo.
8Mukama anaakukuumanga amagenda go n'amadda, Okuva leero n'okutuuka emirembe gyonna.