Loading Bible Translation
First-time download in progress. This may take a few seconds…
Luganda Holy Bible Wordproject Bible
8 verses
1Mu buziba nkukaabidde ggwe, ai Mukama.
2Mukama, owulire eddoboozi lyange: Amatu go galowooze Eddoboozi ery'okwegayirira kwange.
3Mukama, bw'onoobalanga ebitali bya butuukirivu, Ai Mukama, aliyimirira aluwa?
4Naye waliwo okusonyiwa w'oli, Olyoke otiibwenga.
5Nnindirira Mukama, emmeeme yange erinda, Era ekigambo kye kye nsuubira.
6Emmeeme yange eyaayaanira Mukama, Okusinga abakuumi bwe bayaayaanira obudde okukya; Weewaawo, okusinga abakuumi bwe bayaayaanira obudde okukya.
7Ggwe Isiraeri, suubiranga Mukama; Kubanga awali Mukama we wali okusaasira, Era awali ye we wali okununula okungi.
8Era oyo alinunula Isiraeri Mu butali butuukirivu bwe bwonna.