Loading Bible Translation
First-time download in progress. This may take a few seconds…
Luganda Holy Bible Wordproject Bible
8 verses
1Emirundi mingi gye baakambonyaabonyeza okuva mu buto bwange Isiraeri ayogere kaakano;
2Emirundi mingi gye baakambonyaabonyeza okuva mu buto bwange: Naye ne batampangula.
3Abakabala baakabala omugongo gwange; Baatema ensalosalo empanvu,
4Mukama mutuukirivu: Asazeesaze emigwa egy'ababi.
5Bakwatibwe ensonyi, bazzibwe ennyuma, Bonna abakyawa Sayuuni.
6Babe ng'omuddo oguli waggulu ku nnyumba, Oguwotoka nga tegunnakula:
7Omukunguzi n'atajjuza ogwo omukono gwe, Newakubadde asiba ebinywa ekifuba kye.
8Newakubadde abayita teboogera Nti Omukisa gwa Mukama gube ku mmwe; Tubawadde omukisa mu linnya lya Mukama.