Loading Bible Translation
First-time download in progress. This may take a few seconds…
Luganda Holy Bible Wordproject Bible
6 verses
1Alina omukisa buli atya Mukama, Atambulira mu makubo ge.
2Kubanga onoolyanga emirimu egy'emikono gyo: Oliba wa mukisa, era oliraba ebirungi.
3Mukazi wo aliba ng'omuzabbibu ogubala mu nju ez'omunda mu nnyumba yo: Abaana bo ng'amatabi g'omuzeyituuni nga beetooloola emmeeza yo.
4Laba, bw'atyo bw'aliweebwa omukisa omuntu Atya Mukama.
5Mukama anaakuwanga omukisa ng'ayima mu Sayuuni: Naawe onoolabanga ebirungi nga bijja ku Yerusaalemi ennaku zonna ez'obulamu bwo.
6Weewaawo, oliraba abaana b'abaana bo. Emirembe gibeere ku Isiraeri.