Loading Bible Translation
First-time download in progress. This may take a few seconds…
Luganda Holy Bible Wordproject Bible
5 verses
1Mukama bw'atazimba nnyumba, Abagizimba bakolera bwereere: Mukama bw'atakuuma kibuga, Omukuumi atunuulirira bwereere.
2Mukolera bwereere bwe mukeera okugolokoka, era bwe mulwawo ennyo okwebaka; Era bwe mulya emmere ey'okutegana: Kubanga bw'abawa bw'atyo otulo abaagalwa be.
3Laba, abaana bwe busika bwa Mukama: N'ebibala eby'olubuto ye mpeera ye.
4Ng'obusaale bwe buli mu mukono gw'omuzira, Abaana ab'omu buvubuka bwe bali bwe batyo.
5Alina omukisa omuntu omufuko gwe bwe gujjula abo: Tebaakwatibwenga nsonyi, Bwe banaayogereranga n'abalabe baabwe mu mulyango.