Loading Bible Translation
First-time download in progress. This may take a few seconds…
Luganda Holy Bible Wordproject Bible
6 verses
1Mukama bwe yazza nate obusibe bwa Sayuuni, Ne tufaanana ng'abo abaloota.
2Akamwa kaffe ne kalyoka kajjula enseko, N'olulimi lwaffe okuyimba: Ne balyoka boogerera mu mawanga Nti Mukama abakoledde ebikulu.
3Mukama atukoledde ebikulu; Kyetuvudde tusanyuka.
4Ozze nate obusibe bwaffe, ai Mukama, Ng'emigga mu bukiika obwa ddyo.
5Abasiga nga bakaaba amaziga balikungula nga basanyuka.
6Newakubadde nga yagenda ng'akaaba, ng'atwala ensigo; Alidda nate n'essanyu, ng'aleeta ebinywa bye.