Loading Bible Translation
First-time download in progress. This may take a few seconds…
Luganda Holy Bible Wordproject Bible
5 verses
1Abeesiga Mukama Baliŋŋanga olusozi Sayuuni, olutajjulukuka, naye lunywera emirembe gyonna.
2Ensozi nga bwe zeetooloola Yerusaalemi, Ne Mukama bw'atyo bwe yeetooloola abantu be, Okuva leero n'okutuusa emirembe gyonna.
3Kubanga omuggo ogufuga ogw'obubi tegulibeererawo ku mugabo ogw'abatuukirivu; Abatuukirivu balemenga okugolola emikono gyabwe okukola ebitasaana:
4Obakolenga ebirungi, ai Mukama, abalungi, N'abo abalina emitima egitali gya bukuusa.
5Naye abo abeekooloobya mu makubo gaabwe agakyamye, Mukama alibafulumya wamu n'abakola ebitali bya butuukirivu. Emirembe gibeere ku Isiraeri.