Loading Bible Translation
First-time download in progress. This may take a few seconds…
Luganda Holy Bible Wordproject Bible
8 verses
1Singa Mukama si ye yali ku luuyi lwaffe, Isiraeri ayogere kaakano;
2Singa Mukama si ye yali ku luuyi lwaffe, Abantu bwe baatugolokokerako:
3Banditumize, nga tukyali balamu, Obusungu bwabwe lwe bwatubuubuukirako:
4Amazzi ganditutwalidde ddala, Mukoka yandiyise ku mmeeme yaffe:
5Amazzi ag'amalala gandiyise ku mmeeme yaffe.
6Mukama yeebazibwe, Atatugabudde okuba emmere eri amannyo gaabwe.
7Emmeeme yaffe ewonye ng'ennyonyi mu mutego ogw'abatezi: Omutego gukutuse, naffe tuwonye.
8Okubeerwa kwaffe kuli mu linnya lya Mukama, Eyakola eggulu n'ensi.