Loading Bible Translation
First-time download in progress. This may take a few seconds…
Luganda Holy Bible Wordproject Bible
4 verses
1Eri ggwe nnyimusa amaaso gange, Ai ggwe atuula mu ggulu.
2Laba, amaaso g'abaddu nga bwe gatunuulira omukono gwa mukama waabwe, Amaaso g'omuzaana nga bwe gatunuulira omukono gwa mugole we, N'amaaso gaffe bwe gatyo bwe gatunuulira Mukama Katonda waffe, Okutuusa lw'alitusaasira.
3Otusaasire, ai Mukama, otusaasire: Kubanga tujjudde nnyo okunyoomebwa
4Emmeeme yaffe ejjudde nnyo Okuduulirwa abo abalina emirembe, N'okunyoomebwa abo abalina amalala.