Loading Bible Translation
First-time download in progress. This may take a few seconds…
Luganda Holy Bible Wordproject Bible
21 verses
11 Mumutendereze Mukama. Mutendereze erinnya lya Mukama, Mumutendereze, mmwe abaddu ba Mukama:
2Mmwe abayimirira mu nnyumba ya Mukama, Mu mpya z'ennyumba ya Katonda waffe.
3Mumutendereze Mukama; kubanga Mukama mulungi: Muyimbe okutendereza erinnya lye; kubanga lya ssanyu.
4Kubanga Mukama yeeroboza Yakobo okuba owuwe, Ne Isiraeri okuba ow'envuma ye yekka.
5Kubanga mmanyi nga Mukama mukulu, Era nga Mukama waffe asinga bakatonda bonna.
6Buli ky'ayagadde Mukama akikoze, Mu ggulu ne mu nsi, mu nnyanja ne mu by'obuziba byonna.
7Anyoosa omukka okuva ku nkomerero z'ensi; Aleetera enjota enkuba; Afulumya empewo mu mawanika ge.
8Eyakuba ababereberye ab'e Misiri, Ab'abantu era n'ab'ensolo.
9Yaweereza obubonero n'eby'amagero wakati mu ggwe, ggwe Misiri, Ku Falaawo, ne ku baddu be bonna.
10Eyakuba amawanga amangi, N'atta bakabaka ab'amaanyi;
11Sikoni kabaka w'Abamoli, Ne Ogi kabaka w'e Basani, N'amatwale gonna aga Kanani:
12N'agaba ensi yaabwe okuba obusika, Obusika eri Isiraeri abantu be.
13Erinnya lyo, ai Mukama, libeerera ennaku zonna; N'ekijjukizo kyo, ai Mukama, okutuusa emirembe gyonna.
14Kubanga Mukama alisalira omusango abantu be, Era alyejjusa mu bigambo eby'abaddu be.
15Ebifaananyi eby'amawanga ye ffeeza, ye zaabu, Omulimu ogw'emikono gy'abantu.
16Birina obumwa, naye tebyogera; Birina amaaso, naye tebiraba;
17Birina amatu, naye tebiwulira; So tewali mukka mu bumwa bwabyo.
18Ababikola balibifaanana; Weewaawo, buli abyesiga.
19Mmwe ennyumba ya Isiraeri, mumwebaze Mukama: Mmwe ennyumba ya Alooni, mumwebaze Mukama:
20Mmwe ennyumba ya Leevi, mumwebaze Mukama: Mmwe abatya Mukama, mumwebaze Mukama.
21Mukama yeebazibwe okuva mu Sayuuni, Atuula mu Yerusaalemi. Mumutendereze Mukama.