Loading Bible Translation
First-time download in progress. This may take a few seconds…
Luganda Holy Bible Wordproject Bible
26 verses
1Mumwebaze Mukama; kubanga mulungi: Kubanga okusaasira kwe kubeerera emirembe gyonna.
2Mumwebaze Katonda wa bakatonda: Kubanga okusaasira kwe kubeerera emirembe gyonna.
3Mumwebaze Mukama w'abaami: Kubanga okusaasira kwe kubeerera emirembe gyonna.
4Oyo akola eby'amagero ebikulu yekka: Kubanga okusaasira kwe kubeerera emirembe gyonna.
5Oyo eyakola eggulu n'amagezi: Kubanga okusaasira kwe kubeerera emirembe gyonna.
6Oyo eyayaliira ensi waggulu ku mazzi: Kubanga okusaasira kwe kubeerera emirembe gyonna.
7Oyo eyakola ebyaka ebikulu: Kubanga okusaasira kwe kubeerera emirembe gyonna.
8Enjuba okufuga emisana: Kubanga okusaasira kwe kubeerera emirembe gyonna.
9Omwezi n'emmunyeenye okufuga ekiro: Kubanga okusaasira kwe kubeerera emirembe gyonna.
10Oyo eyakubira e Misiri ababereberye baabwe: Kubanga okusaasira kwe kubeerera emirembe gyonna.
11N'aggyamu Isiraeri wakati mu bo: Kubanga okusaasira kwe kubeerera emirembe gyonna.
12N'engalo ez'amaanyi, n'omukono omugolole: Kubanga okusaasira kwe kubeerera emirembe gyonna.
13Oyo eyayawulamu wakati Ennyanja Emmyufu: Kubanga okusaasira kwe kubeerera emirembe gyonna.
14N'ayisa Isiraeri wakati mu yo: Kubanga okusaasira kwe kubeerera emirembe gyonna:
15Naye n'asuulira Falaawo n'eggye lye mu Nnyanja Emmyufu. Kubanga okusaasira kwe kubeerera emirembe gyonna.
16Oyo eyaluŋŋamiza abantu be mu ddungu: Kubanga okusaasira kwe kubeerera emirembe gyonna.
17Oyo eyakuba bakabaka abakulu: Kubanga okusaasira kwe kubeerera emirembe gyonna:
18N'atta bakabaka abaatiikirivu: Kubanga okusaasira kwe kubeerera emirembe gyonna:
19Sikoni kabaka w'Abamoli: Kubanga okusaasira kwe kubeerera emirembe gyonna:
20Ne Ogi kabaka w'e Basani: Kubanga okusaasira kwe kubeerera emirembe gyonna:
21N'agaba ensi yaabwe okuba obusika: Kubanga okusaasira kwe kubeerera emirembe gyonna:
22Okuba obusika eri Isiraeri omuddu we: Kubanga okusaasira kwe kubeerera emirembe gyonna.
23Eyatujjukira bwe twajeera: Kubanga okusaasira kwe kubeerera emirembe gyonna:
24N'atuwonya eri abalabe baffe: Kubanga okusaasira kwe kubeerera emirembe gyonna.
25Awa ebyokulya ebirina emibiri byonna: Kubanga okusaasira kwe kubeerera emirembe gyonna.
26Mumwebaze Katonda ow'omu ggulu: Kubanga okusaasira kwe kubeerera emirembe gyonna.