Loading Bible Translation
First-time download in progress. This may take a few seconds…
Luganda Holy Bible Wordproject Bible
8 verses
1Nneebazanga n'omutima gwange gwonna: Mu maaso ga bakatonda naayimbanga okukutendereza.
2Nnaasinzizanga eri yeekaalu yo entukuvu, Era nneebazanga erinnya lyo olw'ekisa kyo n'olw'amazima go: Kubanga ogulumizizza ekigambo kyo okusinga erinnya lyo lyonna.
3Ku lunaku lwe nnakaabirirako wampitaba, N'oŋŋumya n'amaanyi mu mmeema yange.
4Bakabaka bonna ab'ensi balikwebaza, ai Mukama, Kubanga bawulidde ebigambo eby'akamwa ko.
5Weewaawo, baliyimba ku makubo ga Mukama; Kubanga ekitiibwa kya Mukama kingi.
6Kuba Mukama newakubadde nga ye mukulu, naye n'alowooza abeetoowaza: Naye ab'amalala abamanya ng'ayima wala.
7Newakubadde nga ntambulira wakati mu nnaku, olinzuukiza; Oligolola omukono gwo ku busungu bw'abalabe bange, N'omukono gwo ogwa ddyo gulindokola.
8Mukama alituukiriza ebigambo ebinfaako: Okusaasira kwo, ai Mukama, kubeerera emirembe gyonna; Toleka mirimu gya mikono gyo ggwe.