Loading Bible Translation
First-time download in progress. This may take a few seconds…
Luganda Holy Bible Wordproject Bible
24 verses
1Ai Mukama, wannoonya nze, wammanya.
2Omanyi bwe ntuula, era bwe ngolokoka, Otegeera okulowooza kwange nga kukyali wala.
3Onoonyeza ddala ekkubo lyange n'okwebaka kwange, Era omanyi amagenda gange gonna.
4Kubanga simuli kigambo mu lulimi lwange, Laba, ai Mukama, ggwe ky'otomanyira ddala.
5Onzingizizza mu maaso n'ennyuma, Era ontaddeko omukono gwo.
6Okumanya okuliŋŋanga okwo kwa kitalo, kunnema; Kwa waggulu, siyinza kukutuukako.
7Naagenda wa okuva eri omwoyo gwo? Oba naddukira wa amaaso go?
8Bwe nnaalinnya mu ggulu, nga gy'oli: Bwe nnaayala obuliri bwange mu magombe, laba, nga gy'oli.
9Bwe nnaatoola ebiwaawaatiro eby'enkya, Ne ntuula mu bifo eby'ennyanja ebiri ewala ennyo;
10Newakubadde eyo omukono gwo gunannuŋŋamya, N'omukono gwo ogwa ddyo gunankwata.
11Bwe ndyogera nti Enzikiza teereme kumbikkako, N'omusana ogunneetoolodde gunaaba ekiro;
12Newakubadde enzikiza teyeekisa eri ggwe, Naye ekiro kyaka ng'omusana: Kubanga enzikiza n'omusana bifaanana w'oli.
13Kubanga ggwe olina omwoyo gwange: Wambikkako mu lubuto lwa mmange.
14Naakwebazanga; kubanga okukolebwa kwange kwa ntiisa, kwa kitalo: Emirimu gyo gya kitalo; N'ekyo emmeeme yange ekimanyidde ddala.
15Tewakisibwa mubiri gwange, Bwe nnakolerwa mu kyama, Bwe nnatondebwa n'amagezi amangi mu bya wansi eby'ensi.
16Amaaso go gaalaba omubiri gwange nga tegunnatuukirira, Ne mu kitabo kyo ebitundu byange byonna ne biwandiikibwa. Ebyawumbibwanga buli lunaku buli lunaku, Bwe byali nga tebinnabaawo n'ekimu.
17Era n'ebirowoozo byo nga bya muwendo mungi gye ndi, ai Katonda! Bwe bigattibwa awamu nga bingi!
18Bwe mba mbibaze, bisinga omusenyu omuwendo: Bwe nzuukuka, nga nkyali wamu naawe.
19Tolirema kutta babi, ai Katonda: Kale muve gye ndi, mmwe abasajja abayaayaanira omusaayi.
20Kubanga bakwogerako bubi, N'abalabe bo balayirira bwereere erinnya lyo.
21Sibakyawa abo, ai Mukama, abakukyawa ggwe? Sinyiigira abo abakugolokokerako?
22Mbakyawa okukyawa okutuukiridde Mbayita balabe bange.
23Onkebere, ai Katonda, omanye omutima gwange: Onkeme, omanye ebirowoozo byange:
24Olabe ng'ekkubo lyonna ery'obubi liri mu nze, Era onnuŋŋamyanga mu kkubo eritakoma.